Bannayuganda 1,640 be baalamaze omwaka guno

Jun 28, 2024

EBIBIINA ebitwala abalamazi e Mecca birangiridde nga Bannayuganda bonna be baatwala bwe baabakomezzaawo okuggyako 21 abaasigaddeyo olw’ensonga ez’enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
EBIBIINA ebitwala abalamazi e Mecca birangiridde nga Bannayuganda bonna be baatwala bwe baabakomezzaawo okuggyako 21 abaasigaddeyo olw’ensonga ez’enjawulo.
Sheikh Zakalia Kyewalyanga, ssentebe w’ekibiina omwegattira ebibiina ebitwala abantu e Mecca ekya Bureau of Hajj Affairs yagambye nti omwaka guno baatwala abalamazi 1,640.
Kyewalyanga agamba ebibinja byonna ebyatwala abalamazi byakomyewo mu ggwanga. Abalamazi 21 bokka be bakyasigaddeyo nga bano kyavudde ku kubeera nga balinayo emirimu egyenjawulo gye bakyakolerayo.
E Saudi Arabia waasigaddeyo omulamazi omu yekka nga mukyala ataasobodde kudda olw’okuba akyali mulwadde. Ebbanga erisinga abadde mulwadde ng’abasawo baasazeewo agira asigalayo ng abwe bongera okumujanjaba kuba embeera gye yabadde alimu nga temusobozesa kulinnya nnyonyi. Kyokka amangu ddala ng’ateredde bajja kumulinnyisa ennyonyi akomewo e Uganda.
Sheikh Zakalia Kyewalyanga naye yabadde Mecca

Sheikh Zakalia Kyewalyanga naye yabadde Mecca

Kyewalyanga yategeezezza Bukedde nti ku mulundi guno omusana gubadde mungi nnyo e Mecca era nga kino kyaviiriddeko abalamazi bangi okulwalirayo endwadde ng’ebifuba. Kyokka tewali muntu n’omu yafiiriddeyo.
Yeebazizza Gavumenti ya Uganda n’eya Saudi Arabia abaabakoledde entegeka ennungi kuba buli muntu eyasaba Viza yamuweebwa mu budde era tewali mulamazi yasasula ssente ataagenze.
Hajati Aidah Nagaddya, omukulu w’essomero lya Mityana Public School era akulira abasomesa ba Gavumenti mu munisipaali ye Mityana y’omu ku baakoze Hijja. Yeebazizza Katonda eyamusobozesezza n’asaba buli Musiraamu alina obusobozi okutuukako ku Kaaba.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});