Amawulire

EKIKA ky’endiga kitongoza pulojekiti y’okuzimba ekkadiyizo

EKIKA ky’endiga kitongoza pulojekiti y’okuzimba ekkadiyizo ku butaka bw’ekika kino ng’eno egenda kuwemmenta akawumbi kamu n’obukadde 400 mu nsimbi za Uganda.

Lwomwa akulira ekika ky'Endiga
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

EKIKA ky’endiga kitongoza pulojekiti y’okuzimba ekkadiyizo ku butaka bw’ekika kino ng’eno egenda kuwemmenta akawumbi kamu n’obukadde 400 mu nsimbi za Uganda.

Pulojekiti eno yatongozeddwa nga June 1,2024 e Mbaale-Mpigi mu ssaza ly’e Mawokota ng’omukolo gwakoleddwa Omukulu w’ekika kino, Eria Buzaabo Lwasi.

Ab'ekika ky'Rndiga nga bali ku butaka bwabwe

Ab'ekika ky'Rndiga nga bali ku butaka bwabwe

Lwomwa Lwasi yagambye nti pulojekiti eno egenda kuyamba okukuuma ebyafaayo by’ekika kino saako okubeera ekimu ku makkubo aganaleeta abalambuzi,ekika kifune ate n’okuwa abavubuka emirimu.

Ensimbi ezigenda okukola omulimu guno, Omutaka Lwasi yategeeza nga bwezigenda okufunibwa okuva mu makkubo ag’enjawulo okuli bannamukago n’ebitongole saako n’okusonda kw’abazzukkulu.

Omuwanika w’ekika omuggya, James Mwesigwa Bbosa yalangirira nga bwebaasonda obukadde 100 kwoolwo era n’akubiriza abeddira endiga okuvaayo okujjumbira omulimu guno.

Minisita omubeezi owa tekinologiya mu gavumenti eyawakati, Joyc Nabbosa Ssebuggwawo yasinzira ku mukolo guno n’ajjukiza abakyala obuvunanyizibwa bwaabwe obw’okuyigiriza abaana ennono n’obuwangwa bwaabwe nga babayigiriza ebikwata ku bika byaabwe.

Ab'eKika ky'Endiga nga bali ku butaka bwabwe

Ab'eKika ky'Endiga nga bali ku butaka bwabwe

Ku mukolo guno,Omutaka Lwommwa yayanjudde olukiiko olukulembeze oluggya nga lukulirwa Fredrick Ssekubunga nga Katikkiro w’ekika. Ono alina abamyuka babiri okuli Paul Kiyingi Luwombo n’omumyuka ow’okubiri Hajj Musa Mpungu. Omumyuka w’omuwanika ye Lutalo Kasakya ate ow’amawulire ye Henry Kiwanuka Nakabaale ng’amyukibwa Munnamawulire wa Bukedde Ttivvi Lydia Nakiguli. Justine Namitala yaakola ku nsonga z’abakyala n’abalala bangi

Tags: