Omusajja agambibwa okumenya ekiyungu ky'essomero n'abbamu essefuliya, akawunga , ebikopo n'amasowani , poliisi emukutte.
Kidiridde abantu abatannamanyika okulumba essomero lya Bright Parents Junior School mu Mbale city ne bamenya effumbiro ne babba ebikozesebwa mu kufumba n'akawunga.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti abalala babiri badduse era babayigga.
Agasseeko nti Aduket ali ku lukulala lw'abantu be babadde banoonya ku bikolobero ebyenjawulo n'obubbi mu Mbale.