Amawulire

Abayizi beetabye mu kuzzaawo obutonde bw'ensi

MU kaweefube w’okuzzaawo obutonde bw’ensi obutaaguddwa bannakigwanyizi, Bannalotale y’e Lubaga nga beegattiddwako essaza ekkulu erya Kampala wamu n’essomero lya Trinity College Nabbingo basimbye ekibira ky’emiti gy’ebibala egisoba mu 300 n’ekigendererwa ky’okubukuuma. 

Abayizi nga basimba emiti
By: Ssuuna Peter, Journalists @New Vision
MU kaweefube w’okuzzaawo obutonde bw’ensi obutaaguddwa bannakigwanyizi, Bannalotale y’e Lubaga nga beegattiddwako essaza ekkulu erya Kampala wamu n’essomero lya Trinity College Nabbingo basimbye ekibira ky’emiti gy’ebibala egisoba mu 300 n’ekigendererwa ky’okubukuuma.
 
Akwanaganya enteekateeka ya Wiiki y’ebyenjigiriza mu ssaaza lya Kampala Paul Kiguba era nga y’akulembera Pulojekiti y’okukuuma obutonde mu ssaza yategeezezza nti, okusimba emiti gumu ki miramwa gy’enteekateeka eno n’ekigendererwa ky’okukuuma obutonde bw’ensi nga baakusimba emiti okwetoolola amasomero gonna agatwalibwa essaza.
 
Yagambye nti bayambiddwako Lotale y’e Lubaga abaabawadde emiti gy’okusimba ku ssomero e Nabbingo era nga gyasimbiddwa abayizi abeegattira mu bibiina byabwe okuli eky’okukuuma obutonde n’ekya Lotale mu ffaamu y’essomero.
Abayizi nga basimba emiti

Abayizi nga basimba emiti

 
Yategeezezza nti basazeewo kusimba kibira kya bibala olw’okwagala okuyamba ku bulamu bw’abayizi era n’okukuuma obutonde nga baasimbye ffene, emiyembe, ebittaffeeri, n’ebirala.
 
Yasabye abantu aboonoona obutonde okubukwatibwa ekisa okulaba nga beewala okusaasanya obuveera, kasasiro ate n’okwenyigira mu kusimba emiti okutereeza embeera y’obudde egenze ng’eyonooneka ensangi zino.
 
Pulezident wa Lotale ya Lubaga Pascal Osire nga naye yenyigidde mu nteekateeka eno, yasabye bannansi okujjumbira okukuuma obutonde bw’ensi era n’akubiriza abazadde okwagazisa abaana okubukuuma nga basimba emiti eginaabukuuma.
 
Yakubirizza abantu okwewala ebikolwa by’okubusanyaawo naddala abooca amanda n’okusala embaawo kyokka ate ne batasimba mirala ekyennyamiza.