OMULABIRIZI wa Luweero Wilson Kisekka yeetabye mu kuziika muwala wa Can Godfrey Kasana Semakula eyasazibwamu ku ky'obulabirizi buno n'asaba bakulisitaayo okwerabira enjawukana ezaali mu kuloda omulabirizi bbeegatte bakolerere nkulaakulana.
Asinzidde ku kyalo Sekamuli mu ggombolola y'e Bamunaanika mu Luweero mu kuziika Allen Nabatanzi eyafudde ekibwatukira n'ategeeza ebikumi by'abakungubazi nti Kasana boogera naye era basisinkana n'okwekubira amasimu nga yabadde amusabye n'okumukyalira eby'embi azze mu kiseera kya kuziika.
Bp Kisekka asabye abantu okwewala okwemalamu n'ebyensi bakolerere obulamu bw'eggulu kyokka n'asiima Can kasana okukuza abaanabe mumpisa n'eddiini.
Omulabiirizi wa Luweero eyawummula Eridard Kironde Nsubuga asoose kulangira baawule okubeera n'enkwe buli omu abeere mukwano gwa munne beerebire ebyayita bakolere wamu ng'abakulisitaayo.
omulabirizi wa Mityana James Bukomeko asabye Can Kasana okuguma kuba buli ekigwawo Katonda y'akitegeka kyokka ng'ekikulu kwe kufiira mu Kristo.