Jose ne Bebe batutte Alien Skin ewa Pulezidenti Museveni mu 'State House'

Aug 22, 2024

Alien Skin guno gwe mulundi gwe ogusoose mu bulamu okusisinkana Pulezidenti Museveni era yabadde musanyufu nnyo kubanga ne ku mulundi guno yabadde ayambadde bulungiko.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI Alien Skin ebittaala byongedde okumuta bayimbi banne okuli Bebe Cool (Moses Ssali) ne Joseph Mayanja (Chameleon) bwe bamututte ewa Pulezidenti Museveni ne bakutula ddiiru.

Alien Skin guno gwe mulundi gwe ogusoose mu bulamu okusisinkana Pulezidenti Museveni era yabadde musanyufu nnyo kubanga ne ku mulundi guno yabadde ayambadde bulungiko.

Chameleon yabadde mu ssuuti, ye Bebe Cool yayambadde bulungi naye teyabadde mu ssuuti kubanga ye Pulezidenti w’ayagalira w’amulabira..

Chameleon, Alien (wakati) Ne Bebe, Lwe Baasisinkanye Pulezidenti Museveni Eggulo. Ekifaananyi Kya Yintaneeti.

Chameleon, Alien (wakati) Ne Bebe, Lwe Baasisinkanye Pulezidenti Museveni Eggulo. Ekifaananyi Kya Yintaneeti.

 Omumyuka w’omwogezi wa maka g’obwapulezidenti Hajji  Farouk Kirunda yakakasiza nti kituufu abayimbi bano abasatu eggulo ku Lwokusatu baasisinkanye omukulembeze w’eggwanga ku nsonga ez’enjawulo.

 “Baamusisinkanye nga Bannayuganda kubanga balina eddembe lyabwe okumulaba ne bamubuulira ebizibu byabwe gattako okumulaba nga abayimbi era nsuubira tebayinza butayogera ku nsonga zaabwe ezibagatta okulaba bwe bayinza okwekulaakulanya.

 Ensonda mu banywanyi ba Chameleon zaategeezezza nti omuntu waabwe olwatusse mu maaso ga Museveni yamulaajanidde amuyambeko ku ssente z’okutegeka ekivvulu kye ekinaatera okubaawo ssaawa yonna.

Mu ngeri y’emu n’omuyimbi Eddy Kenzo naye yagudde mu bintu oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okumugonnomolako ogufo gw’okubeera omuwabuzi we ow’enjawulo ku nsonga z’ebiyiiye ( Special Presidential Advisor on Creatives).

Ekifo Kenzo kye yafunye agenda kuweebwa offiisi ku kizimbe kya Kingdom Kampala okutuula eyali Katikkiro wa Uganda, Ruhakana Rugunda n’eyali minisita Ssempijja gattako mmotoka ennene n’amafuta n’abakuumi ssaako n’omusaala ogwa buli mwezi.

 Kenzo bwe yabadde ayogerako ne Bukedde leediyo ku Lwokuna ku ngeri ki gy’awuliramu nga bamuwadde ekifo kino, yagambye nti abayimbi bonna bafunyeemu.

“Kino ekifo si kyange nga Kenzo wabula kyaffe ng’abayimbi era tugenda kifunamu kubanga bye nalwanirira edda bayimbi bannange bagenda babirabako” Kenzo bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti bwe yali atandika ekibiina kya “Uganda Musician Federation”ne banne kwali kati nga Pulezidenti, abantu bangi baamulwanyisa wabula Gavumenti bwe yabawa obuwumbi 13, okubuteeka mu SACCO yaabwe eno, yayongeddeko nti n’abaali bawakanya ekibiina bajja ne bazifuna ekitaalina mutaawana.

“Ssente za SACCO zino ziyambye nnyo abayimbi kubanga buli azeewoola amanya nti alina okuzizza era ne bazikolamu eby’omugaso ekitaaliwo emabega. Buli eyafunanga ssente ewa Museveni ng’azirya buli nga teyeeguliddeemu wadde ennanga.” Kenzo bwe yayongeddeko.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});