OMUDIGIZE w'omu Kampala Don Nasser nga amannya ge amatuufu ye Nasser Nduhukire 38 asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango egy'ekuusa ku kukozesa abaana abatanneetuuka.
Nasser yakwatiddwa ku weekend okuva ku mulirwano mu ggwanga lya Kenya gyeyali yekukumye abyebyokwerinda okuviira ddala mu mwezi gwa May mweyaddiza omusango guno.
Ono avunaanibbwa emisango ebiri okuli ogw'okukukusa omwana owemyaka 16 n'ogwokumukabasanya.
Don Nasser avunaanibwa ne Promise Ateete 19 nga Ono ye muyambi w'omubaka wa munisipaali wa Ntungamo Yonna Musinguzi.
Ateete yali yayimbulwa ku kakalu ka kkooti wabula kimubuuseeko leero omuwaabi wa gavumenti Joseph Kyomuhendo bwasabye kkooti ekyuuse mu mpaaba y'omusango guno ebateekeko emisango gya kalabba.
Omuwaabi wa gavumenti ategezezza nga okunonyereza ku musango guno bwekukyagenda mu maaso n'asaba kkooti okubawaayo obudde okwogera okunonyereza.
Omulamuzi Ronald Kayizzi wano weyasinzidde nategeeza nga kkooti bwetalina lukusa okuwuliriza musango gwakikula kityo kuba munene guwulirwa kkooti enkulu era nga ekibonerezo kyagwo singa kubeera gubasse mu vvi kibeera Kya kalabba.
Wano okweyimirirwa kwa Ateete kwasazibbwamu omulamuzi n'abasindika ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga October 8,2024.