Aba Kincorp batongozza kkampeyini y'okweggya mu bwavu

Oct 01, 2024

Aba Kampala Isingiro North Resident’s Cooperative Society Limited) batongozza kaadi egenda obakumira mu Kibiina kyebaatandikawo mu 2021 okulaba nga bagonjoola ensonga yokweggya mu bwavu.

By Janan Kisitu
Journalist @New Vision
Aba Kampala Isingiro North Resident’s Cooperative Society Limited) batongozza kaadi egenda obakumira mu Kibiina kyebaatandikawo mu 2021 okulaba nga bagonjoola ensonga yokweggya mu bwavu.
 
Mu lukungaana lwabwe olubadde  ku Hotel Africana sentebe w’ekibiina kya Kincorp Peace Kabasasho yasabye ba mmemba b’ekibiina okukwataganira awamu okulaba nga bava mu bwavu. 
Mu bigambo bye Kabasacho yeebaziza abo bonna abasobodde okuduukirira omulanga akakiiko kebaba basabye nga omulamwa gw'okwekulaakulanya era n'asaba basigale nga bakwatira wamu.
Aba Kampala Isingiro North Resident’s Cooperative Society Limited) mu kutongoza kkaadi yaabwe

Aba Kampala Isingiro North Resident’s Cooperative Society Limited) mu kutongoza kkaadi yaabwe

Omukubiriza ate ng'amyuka sentebe w’ekibiina Kya Kincorp Wycliffe Natweeta yalaze omulamwa gwe ekibiina ekikumidde ba memba awamu obutava ku mulamwa.
 
Ate ye omuwanika w’ekibiina David Mugisha yalaze embalirira y’omwaka kwosa newabatuuse nga ab’ekibiina kya okuva webakitandika. Yalaze embalirira ya obukadde 26 zebakakunganya mu kibiina era neyebaza abo bonna abafuddeyo ne okutekayo omutima. Omukolo gwakomerezedwa nakutongoza kaadi y’ekibiina empya.
Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});