Iran eraze enfo za Yisirayiri z’egenda okwesasulizaako
Oct 29, 2024
IRAN esazeewo kuddamu kwesasuliza ku Yisirayiri eyagikubye era emaze okusalawo enfo z’egenda okukuba okulumya Abayudaaya n’ensi ezigiwagira naddalaAmerica.

NewVision Reporter
@NewVision
IRAN esazeewo kuddamu kwesasuliza ku Yisirayiri eyagikubye era emaze okusalawo enfo z’egenda okukuba okulumya Abayudaaya n’ensi ezigiwagira naddala
America.
Omukulembeze wa Iran ow’oku ntikko, omukambwe era mutaseka Ayatollah Ali Sayyed Khamenei yayogedde eri eggwanga amangu ddala nga Yisirayiri yaakamala okukuba enfo za Iran ezisoba mu 20 n’agamba nti Iran agenda kwesasuza mu maanyi. Yalagidde be genero ab’eggye erya Islami Guard Corps okumuwa Pulaani y’okwesasuza
era baasonze ku nfo za Yisirayiri 15 ze baagambye nti ezo Iran bwenaazikuba Yisirayiri ejja kugwamu ekidumusi! Kati Ayatollah y’alindiriddwa okusalawo
ekisembayo.
OLUKALALA LW’ENFO EZISUUBIRWA OKUKUBWA
lMachne Yarden Golan Heights. Eno ya maanyi mu kugikuba kijja kuba kiyambye ku bakambwe ba Hezbollaha abasinziira mu Lebanon. Enfo eno ekozesebwa nnyo nga IDF ekuba Syria.
Eyo egenda kukubwa lumu ne ginnaayo mu kitundu ky’ekimu eya Camp Filon Golan Heights Enfo endala kuliko; lHaifa Naval Base mu kabuga
Haifa. Eyo basuubira kugikuba ne ginnaayo eya BHD 600 Haifa mu kitundu kye kimu.
lAtlit naval base near Atlit lBiranit Galilee lRamat David Airbas lCamp Anatot mu Yerfuzalemi lCamp Bar Lev mu Kiryat Malakhi lSirkin base mu Kfar Sirkin lLod Airbase Lod lAshdod Naval Base lNevatim Airbase Nevatim.
Enfo esembyeyo ne mu kwesasuza kwa October ng’atandika era Iran yagikuba naye teyaginoza nga kyandiba nga baagizizzaako lwekyo.
No Comment