Abalya ku mmwanyi balaze okutya kwabwe ku kuggyawo UCDA

Oct 30, 2024

ABANTU abalya ku mmwaanyi omuli abazirima, abazisuubula, abazigattako omutindo, n’abatunda endokwa, balaze okutya nti singa ekitongole kya UCDA kiggyibwawo, kyandiviirako ebbeeyi y’emmwaanyi okukka abantu ne bafiirizibwa, n’enkulaakulana y’eggwanga n’edda emabega

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU abalya ku mmwaanyi omuli abazirima, abazisuubula, abazigattako omutindo, n’abatunda endokwa, balaze okutya nti singa ekitongole kya UCDA kiggyibwawo, kyandiviirako ebbeeyi y’emmwaanyi okukka abantu ne bafiirizibwa, n’enkulaakulana y’eggwanga n’edda emabega.
Bagamba nti ebintu we bituuse, Gavumenti yandisoose n’erindako okugyawo UCDA, n’esooka eddamu ne yeebuuza ku bantu abali mu mmwaanyi n’efuna ekifaananyi ekituufu ku bibi n’ebirungi bya UCDA, n’eryoka ekola okusalawo okunaagasa Munnayuganda.
Hajji Sowedi Sserwadda ssentebe w’abalimi b’emmwanyi abeegattira mu kibiina kya Kibinge Coffee Farmers’ Co-operative Society Ltd e Bukomansimbi, yagambye nti okukubaganya ebirowoozo kwonna ku nsonga za UCDA, kimwewuunyisa okuba nga tewali munnabyabufuzi yali abeebuuzizzaako ne bamubuulira obuzibu n’ebirungi ebiri mu UCDA.
Sserwadda agamba nti UCDA ebayambye nnyo okukwasisa omutindo mu balimi b’emmwanyi era emmwaanyi za Uganda ne zifuna akatale ebweru. Eky’okulabirako, emmwaanyi ya Arabica erimibwa mu buvanjuba bwa Uganda ye yali esinga eya Robusta erimibwa mu Buganda okugula ssente ennyingi ku katale k’ensi yonna, kyokka kati zibadde zivuganya lyanda ku lyanda, era abalimi nga batandise okufunamu.
Embeera eno Sserwadda agiteeka ku maanyi ga UCDA, olw’okukwasisa obulungi omutindo, kye yagambye nti kyandifunamu okusoomoozebwa singa kiba kiggyiddwaawo.
Kyokka mu ngeri y’emu, waliwo n’ebizibu UCDA by’ereese oba ebigiremye okukolako, nga okubinika abatwala emmwaanyi ebweru w’eggwanga omusolo omungi, nga bino byonna byetaaga abali mu mmwaanyi be babibuulidde abakola amateeka, ne basobola okusalawo obulungi.
Ate ye akulira ekibiina kya Lwabenge Coffee Farmers Co-operative, Frank Nsibambi, yagambye nti okuggyawo UCDA, omulimi w’emmwaanyi bagenda kuba bamuzibye omumwa, kubanga abalimi babadde bafuna omukisa okuloopa abantu abaanika emmwanyi obubi, okwebuuza ku UCDA ku bintu nga endokwa, endwadde n’ebirala era banguyirwa.
Naye ne kabatanda ne babazza mu Minisitule y’ebyobulimi, Nsibambi yagambye obuzibu bugenda kuba buzze, kubanga abakozi ba Minisitule bakola basooba, tebatuukikako, ate engeri bajeti gy’eba egenda okukendeera, gujja kubula asala.
UCDA era ebadde ewa abalimi emiwendo gy’emmwaanyi bwe giyimiridde ku katale, ne balemwa kudondolwa basuubuzi, nga kati bino byonna Nsibambi ne banne batidde nti bijja kutaataagana, kibazze emabega.
Ate ye David Kawunde, nga alina Nassale z’emmwanyi eziwerako mu Kalungu, yagambye nti emmwaanyi ezeeyongedde obungi mu ggwanga kubadde kufuba kwa UCDA, kubanga ye yayamba okuteekawo Nassale z’emmwanyi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, nga zifulumya endokwa eziri ku mutindo, abalimi ne bawona okufiirizibwa.
Yawadde eky’okulabirako, nti ebitundu by’e Kalungu okuli Lwabenge, Lwabanyonyi, Kirimanyaga n’awalala lyali ttale nga balundirayo nte, naye UCDA ye yaleetayo enteekateeka y’okulima emmwaanyi n’esomesa abantu n’ebawa n’endokwa, kati bangi mu bitundu bino bagagga lwa UCDA. Okutya kwa Kawunde okuzza UCDA mu minisitule y’ebyobulimi, kuli ku bakozi ba Gavumenti abakyalimu enkola enkadde, emirimu nga bagikola kasoobo, batuuka kikeerezi ku mirimu, bannyuka mangu, tebaddamu mabaluwa, n’ebirala.
Omusuubuzi w’emmwanyi ate nga mulimi Amos Kasigi, yagambye nti UCDA y’ekoze omulimu omunene okutumbula emmwaanyi, kubanga Gavumenti ne bwe yandigabye endokwa mmeka, nga tekuli asomesa balimi na kulondoola mutindo, era obungi bw’emmwaanyi ezigenda ku katale k’ensi yonna zandibadde teziwera nga ze tutwala kati.
Kasigi era agamba nti UCDA erongoosezza omulimu gw’emmwaanyi ng’eyita mu kugaba layisinsi eri aba Nassale, abasuubuzi, abagattako omutindo n’abalala.Ekintu kino Kasigi agamba nti kirabika ng’ekyangu, naye takakasa nti Minisitule y’ebyobulimi erina obusobozi obukola emirimu gino, olw’obuvunaanyizibwa obungi bwe bagitisse.
Ye akulira ekibiina ekitaba bannanyini bizinensi entonotono, John Kakungulu Walugembe, yagambye nti UCDA obuvunaanyizibwa obwagiweebwa ebukoze bulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});