SSAABADINKONI Canon Wasswa Ssentamu okuva ku kiggwa ky’abajulizi ekya Anglican Site e Namugongo, avumiridde ebikolwa by’okukoppa ebigezo ebiri mu bayizi abamu, ebiyinza okubaleetera ebizibu ebibuuzo byabwe ne bitadda, oba okubigwiira ddala n’agamba nti oyo yenna asuubira okukikola Katonda agenda kuba amulaba emisana n’ekiro.
Bano abasabye batwale eky’okulabirako ng'ekya King Solomon bwe yasaba Katonda okumuwa amagezi , nabo agabawe era ne yeebaza abazadde b'abayizi ba Good Foundation Preparatory School - Namugongo okuweerera abaana wabula n’abakuutira basseeyo nnyo essira nga bagunjula abaana, n’abalenzi babatunuulire nnyo ky'agamba nti okusinga bafa nnyo ku baana abawala, ekyonoonye ennyo abalenzi ensangi zino.
Nga Babakwasa Ebbaluwa Eziraga Nti Bakuguse Mu Kompyuta (2)
Abayizi
Barbra Mawanda nnannyini ssomero lya Good Foundation Preparatory School Namugongo akuutidde abazadde obutawa baana baabwe masimu ga mitimbagano kubanga kisudde abaana abato bangi mu bunnya olw’ebyo ebifulumira ku mitimbagano ebiyinza okubaggya ku mulamwa.
Mukisa Alousious amyuka akulira essomero eryo, asabye abazadde okuyigiriza abaana okuweereza Katonda ate babakuume engeri gye bagenda mu luwummula oluwanvu nga bwe babasomesa n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
Abazadde N'ababuulizi Nga Basabira Abayizi Ba P.7. Mu Ganduula Ye Canon Wasswa Ssentamu Okuva Mu Kigo Ky'abajulizi Ekyabapolesitanti E Namugongo (2) Copy
Barbra Mawanda Nannyini Ssomero Ng'ayogerako Eri Abayizi (2)
Akuutidde aba P.7 abagenda okutuula ebigezo nga 6 ne 7, okwekkiririzaamu nga bakola ebigezo byabwe ebisembayo ku ddaala lya Primary obulamu bwabwe obw’omu maaso busobole okubagondera.Ye Arnest Mugalaasi akulira abazadde ku ssomero eryo, yeebazizza abazadde olw’okuweera abaana baabwe era n’asaba Katonda nate akikole bayite bulungi nga bwe baakikola omwaka oguyise.
Nga Babakwasa Ebbaluwa Eziraga Nti Bakuguse Mu Kompyuta (1)
Abazadde N'ababuulizi Nga Basabira Abayizi Ba P.7. Mu Ganduula Ye Canon Wasswa Ssentamu Okuva Mu Kigo Ky'abajulizi Ekyabapolesitanti E Namugongo (1) Copy (1)
Kansala Musa Nsuubuga akiikirira Namugongo Nsawo ku Kira Munisipaali asabye abayizi ba P.7 abagenda okukola ebigezo byabwe babeere bagumiikiriza, bavumu ate bekwase Katonda nga batuula ebigezo byabwe.
Jorum Yawe akulira abayizi ku ssomero agambye nti baalina okusomoozebwa kw’amasannyalaze agaali agabatawaanya nga gavaavaako ku ssomero eryo, ssaako n’ekizibu ky’amazzi kyokka yeebazizza nannyini ssomero Barbra Mawanda olw’okulwanyisa ebizibu ebyo , n’abagulira sola n’amazzi n'agakolako era basuubira okuyita obulungi ennyo n’okusinga bwe kyali kibadde.
Oluvannyuma aba Namugongo Church of Uganda abakulembeddwamu Canon Wasswa Ssentamu babawadde kaadi ebaagaliza obuwanguzi mu bibuuzo byabwe, ssaako n’aba Mandaleo Foundation abaabasomesa kompyuta, ne babawa ne bbaluwa zaabwe ezibakakasa nti baabangulwa mu kompyuta .