AKALULU KA AMERICA: Kaani? ka Trump, ka mukazi Kamala

Nov 02, 2024

AKALULU ka America ke kali ku mimwa gy’abantu mu nsi yonna okuli ne Bannayuganda. Olw’amaanyi ga America ng’ensi esinga ssente mu nsi n’eggyeery’amaanyi, bangi balinze kinaava mu kalulu akagenda okukubwa nga 5 November, (Lwokubiri lwa wiiki ejja). Donald Trump owa Republican  agenda kuttunka ne Kamala Harris owa DP mu kalulu akagenda okumenya likodi mu kulonda kwa America okumaze emyaka n’ebisiibo

NewVision Reporter
@NewVision

AKALULU ka America ke kali ku mimwa gy’abantu mu nsi yonna okuli ne Bannayuganda. Olw’amaanyi ga America ng’ensi esinga ssente mu nsi n’eggye
ery’amaanyi, bangi balinze kinaava mu kalulu akagenda okukubwa nga 5 November, (Lwokubiri lwa wiiki ejja). Donald Trump owa Republican  agenda kuttunka ne Kamala Harris owa DP mu kalulu akagenda okumenya likodi mu kulonda kwa America okumaze emyaka n’ebisiibo.
Singa Trump akawangula, agenda kubeera Pulezidenti wa America owookubiri okutuula mu ntebe n’agivaamu nga talondeddwa ate n’agiddamu nga wayise ekisanja kiramba eky’emyaka ena.
Amawulire ga NBC Washington gagamba nti, Trump ye yali Pulezidenti wa America owa 45 okuva 2017 okutuuka 2021 lwe yasikirwa Joe Biden.
Bw’akomawo agenda kubeera Pulezidenti wa 47. Eyali Pulezidenti Stephen Grover Cleveland ye yekka abadde yaakasobola okukikola bwe yaddamu okutuula mu ntebe eyo mu kalulu ka 1884.
Ekyo kiba kigenda kuddamu okulabika oluvannyuma lw’emyaka 140. Singa Kamala akawangula, agenda kubeera omukyala asoose okutuula mu ntebe eyo okuva America lwe yefuga mu 1776 gy’emyaka 248. Kamala era ajja kubeera omuddugavu owokubiri okutuula mu ntebe eyo ng’eyasooka yali Barack Obama. Agenda kubeera
asoose okuva mu bitundu bya Asian. Maamawe ye Shyamala Gopalan Harris eyava e Buyindi okugenda mu America okusoma gye yasanga Donald J. Harris Omuddugavu gwe yamuzaalamu 

 

AKALULU NGA BWE KAYIMIRIDDE ESSAAWA ENO 

Ekitongole kya Ipsos ekikola ku by’okunoonyereza ku ani asinga mu by’obutale (market research), kyakolaganye n’amawulire ga ABC News ne bakola okunoonyereza.
Okunoonyereza kuzze kukolebwa okuva August okutuuka kati. Kwalaze nga Kamala ali waggulu ku Trump.
Buli omu alina ky’asinga munne. Trump asinga Kamala ku ngeri gy’asuubira okukwatamu ebyenfuna ate Kamala asinga Trump ku ngeri gy’agenda okuwagira abaagala okugyamu embuto Trump ky’atayagala kuwuliza. Mu byonna, Kamala
alina ebitundu by’abalonzi 52 ku 100 ate Trump 48 ku 100.
AMASAZA AG’ENKIZO
Akalulu ka America kalalamu ku koomanyi kubanga Kamala ayinza
 ng’okunoonyereza bwe kulaze kyokka jukira nti ku masaza 50, kuliko musanvu mu
kulonda kuno agagenda okusalawo omuwanguzi. Kamala ky’awangula essaawa eno kye bayita Popular vote kyokka amasaza ag’enkizo
nago abeera alina okugawangula okutangaaza emikisa gye.
Amasaza ago kuliko Pennsylvania, North Carolina, Michigan, Nevada, Georgia,
Arizona ne Wisconsin. Amasaza ago ge bayita Swing States oba Battle Ground States
kubanga go gannampawengwa, agamatiza gwe galonda ekitali ku malala nga bw’olaba New York eyamatira edda DP oba Texas ezze eronda Republican.
OMUWENDO GW’ABAAKALONDA
Amawulire ga, The Guardian gagamba nti omuwendo gw’abaakalonda gusoba mu
bukadde 60. Abalonda essaawa eno be bakadde n’abalwadde abatasobola kusimba layini ku lw’okulonda. Abalala abakkirizibwa okulonda amangu kwe kuli abalina
engendo ku lw’okulonda, abalina emirimu egy’enkizo n’abalala kyokka nga bonna basooka kusaba lukusa. America erimu abalonzi abasukka obukadde 140 okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia.
BYE BAZZE BOOGERA MU KADDE AKASEMBAYO
Trump eyabadde mu kifo kya Hudson Square mu kibuga NewYork kye yajjuzza ne yeewaana bw’alina amaanyi mu ssaza erironda bulijjo aba DP, yazzeemu
okuwera bw’agenda okufuumuula abagwira n’asuubiza abasuubuzi baayo okubazzaamu endasi nti Kamala ne Biden gye yabamalamu nga bbizinensi zaabwe zikendedde amaanyi. Trump y’omu ku bannaggagga abasinga mu New York ekibuga ekisingamu abasuubuzi mu America. Basinda kulonda ba DP era ne kati kisuubirwa nti Kamala
y’ajja okuwangulayo. Kamala naye yagenze mu kibuga Washington DC n’abajjukiza nti ebyaliwo nga January 6, abawagizi ba Trump bwe baalumba Palamenti ya America eya Capitol Hill ne nga kigambibwa nti ye yabakunga okugezaako okulemesa Biden
eyali amuwangudde. Aba DP banenya Trump okugezaako okumenya ssemateeka
w’eggwanga eryo ng’alemera mu ntebe era agenda amuyita ‘fascist’ ekitegeeza nakyemalira.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});