Poliisi ekutte 3 ku by’okubbira ku nguudo z’omu Kawempe
May 04, 2025
POLIISI ekutte abavubuka basatu abagambibwa okukulira akabinja akabbira ku nguudo.Abakwatiddwa kuliko abakulira akabinja ababbira ku nguudo zomu Kawempe ng’era bano poliisi erudde ng’ebanoonya.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI ekutte abavubuka basatu abagambibwa okukulira akabinja akabbira ku nguudo.
Abakwatiddwa kuliko abakulira akabinja ababbira ku nguudo zomu Kawempe ng’era bano poliisi erudde ng’ebanoonya.
Abaakwatiddwa kuliko; Kakima Ssentongo amanyiddwa nga Guusi, James Mubiru ne Kalungi manyiddwa nga Kavesti. Kalungi bwe yakwatiddwa yakakasizza
nti mumenyi w’amateeka .
Omusuubuzi w’oku Kaleerwe, Musa Muwonge yagambye nti akabinja
kano kanene nga kabbira ku nguudo z’omu Kawempe, era singa ogezaako okubalwanyisa
bakukuba.
Bakolera ku nguudo okuli; Kyebando, Mawanda Road, Binaisa, Alice Kaggwa Road, Kavule n’endala.
Akulira poliisi y’oku Kaleerwe, Asp Rogers Musana yategeezezza nti abaakwatiddwa baludde nga banoonyezebwa ku misango gy’okuteega abantu mu makubo
ne babakuba ng’okubakwata yamaze kufuna baserikale nga bali mu ngoye eza bulijjo ne babavumbiikiriza ne bakwatibwa.
No Comment