Ebikolo by’eddagala 5 ebigoba ebiwuka by’omu lubuto

May 04, 2025

ABANTU abakulu abamu n’abaana olumu balwala wabula ne balemererwa okuzuula obulwaddenga balowooleza mu ndwadde ez’amaanyi ennyo, so nga biwuka bya mu lubuto bye bivaako obuzibu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU abakulu abamu n’abaana olumu balwala wabula ne balemererwa okuzuula obulwaddenga balowooleza mu ndwadde ez’amaanyi ennyo, so nga biwuka bya mu lubuto bye bivaako obuzibu.
Ebiwuka bino bitawaanya abakulu n’abato wadde nga bisinga mu baana olw’okubeera mu bucaafu ekisusse.
Alex Batibwe Ssembajjwe, omunoonyereza w’ekitongole kya gavumenti ekya Natural
Chemotherapeutics Research Institute (NCRI) agamba nti, ebiwuka bino bigwa mu bika
bingi n’enkula ya ya njawulo.
Annyonnyola nti:Ebiwuka bino bya bulabe ddala, nga bwe bikuyingira bikunuunamu
omusaayi, okukulumya olubuto n’okulukalubya n’okaluubirirwa
okufuluma.
Bisobola n’okukugenda ku bwongo ne weesika. Biyingira amawuggwe n’ofuna ekifuba
ekitawona n’okukaluubirizibwa mu kussa.
OBUBONERO KW’OLABIRA ALINA EBIWUKA MU
LUBUTO
Waliwo obubonero obukulaga nti, omuntu alina ebiwuka mu lubuto,
okuli:
l Okuddukana.
l Okusiiyibwa naddala emabega
w’ofulumira.
l Olubuto okwepika.
l Okubulwa obwagazi bw’okulya.
l Okusinduukirirwa emmeeme,
era ng’olumu osesema.
l Olususu okufuukuuka.
l Osobola n’okufuluma
ebiwuka byennyini ebirabika.
ENGERI Y’OKUZIYIZA EBIWUKA BY’OMU
LUBUTO
l Okulya emmere enfumbe
obulungi.
l Okwoza ebibala ebiriibwa nga bibisi.
l Okunywa amazzi amafumbe.
l Obutamansamansa bubi obutambuza ebiwuka.
l Okwambaza omwana engatto kubanga ebiwuka bino ebimu  biyita mu bigere ne biyingira  omubiri okutuuka mu lubuto.

EDDAGALA LY’EKINNANSI ERIRWANYISA
EBIWUKA BY’OMU LUBUTO
Waliwo ebikolo by’eddagala  ly’ekinnansi ebikwetoolodde awaka wo by’osobola okweyambisa, era nga ku bino kuliko: 1 Amapaapaali amato. Gano kibala kyago kyennyini wamu n’obusigo birimu ebirungo okuli ekya ‘papain’ n’ekya ‘carpain’ n’ebirala ebigoba ebiwuka mu lubuto.
Osobola okukaza obusigo bw’amapaapaali n’obukolamu  ensaano n’osenangako ejjiiko
emu oba bbiri n’ozitabula mu mubisi gw’enjuki n’owa omwanan’anuuna.
 Amapaapaali gano osobola okugasalaasala n’ogateeka mu  mazzi n’okamula n’akuuma
n’ofunamu omubisi n’onywa ogwo.
Wabula olina okugenderera
ng’okozesa amapaapaali gano kuba mu bantu abamu gacankalanya olubuto. 2   Katunguluccumu : Ono alimu  ebirungo okuli ekya ‘allicin’  ne ‘sulfur’, nga bino bitta
ebiwuka mu lubuto.
Ku mwana osalaasala akatundu katono n’omuteekera mu mmere n’alya. Wabula omukulu  asobola okulya obunene. Naye era weegendereza kuba mu bantu abamu katunguluccumu ataataaganya okussa, abalala abaleeta ekikeeto n’abanti okubacankalanya olubuto. 3 Cloves : Zino nazo zikola omulimu munene mu kulwanyisa
n’okutta ebiwuka mu lubuto, olw’ekirungo kya ‘eugenol’ ekizirimu.
Cloves osobola okuzikolamu ensaano n’okozesangako ggulaamu emu oba bbiri (1-2
gm) ku caayi buli lunaku. Tolina kuyitiriza, kuba nazo zisobola okucankalanya olubuto. 4 Kaamulali naye tosaanye kumubuusa maaso ng’onoonya ebikolo ebivumula ebiwuka. Osobola okunoga omubisi n’omuliira mu nva oba okumukaza n’omukolamu ensaano era nga nayo otoolako ensaamusaamu n’ogissa mu nva. Yandisinze kukozesebwa bakulu kubanaga abalagala ekisusse ku baana. 5 Ekinzaali ekiganda nakyo osobola okukyeyambisa okugoba ebiwuka mu lubuto wadde nga kirimu ekirungo kitono ddala
ekibigoba.
Wabula, ekisinga obukulu kwe kukuuma obuyonjo mu kulwanyisa ebiwuka by’omu
lubuto naddala mu baana. Omuntu asaana okunaabanga mu ngalo buli luvannyuma lw’ekiseera n’amazzi amayonjo ate era ne sabbuuni ne zitukula
bulungi. Kuno kw’ogatta okuyonja awaka n’ebikozesebwa byonna.Ebiwuka ebisinga  biyingirira mu kamwa nga biyitira mu bye tulya, ensonga lwaki tusaana okwegendereza ennyo bye tulya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});