Engeri Yesu gyaggula amaaso gaffe okumulaba

May 04, 2025

TUTUNUULIRA olumu ku ndabika za Mukama waffe Yesu Kristo nga amaze okuzuukira.

NewVision Reporter
@NewVision

TUTUNUULIRA olumu ku ndabika za Mukama waffe Yesu Kristo nga amaze okuzuukira.
Lukka ye njiri yokka eraga okulabika okwo. Okulabika kuno tekukoma kulaga ki kyali kyokka, naye ne ngeri Yesu gyaggulawo amaaso gaffe okumulaba.
Tulaba abasajja bano nga batambula naye era ng’omuntu atambula nga tategedde Yesu, tamanyi byawandiikibwa wabula oluvannyuma n’abeera n’obujulirwa.
Njagala tuyige ebintu 5:
1.YESU ATUNOONYA
Newankubadde abayigirizwa baali bamanyiYesu naye nga tebamwetegerezanga. Waliwo ensonga nnyingi ezireeta kino;
a)Ebintu tebyagenda nga bwe baalibabisuubira. Newankubadde Katonda alina entegeka gyetuli twetaaga okubeera nga tutegeera enkola ze.
b)Baaziyizibwa ne batamutegeerera eraoluusi wabaawo obugayaavu mu bulamu bwaffe obutuziyiza okutegeera Katonda.
c)Baalina okukkiriza okutono. Amaasogaabwe gaali tegannazibulwa. Okumanya ebikwata ku Yesu n’okumanya byanjawulo.
2.YESU AGGULAWO AZIBULAAMAASO GAFFE
Olunyiriri 27: “Nasokera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n’abategeeza mu byawandikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikibwako.”Yesu aggula amaaso gaffe ng’atujjukiza ebyawandiikibwa bwe bujulirwa obumukwatako.
3.YESU ATWEBIKKULIRA
Yesu yabikkulira abo abazibudde amaaso.Bwe yamenya Omugaati n’ategerekeka gyebali. Yesu mu biseera bino ayagala omutegeera mu ngeri ey’enjawulo.
Gy’okoma okusemberera Yesu n’okukwatagana naye, naye gy’akoma okukweyanjululiza.
4.YESU ATUSOBOZESAOKUGABANA N’ABALALA
Amaaso go bwe gazibuka oyaayaana okutegeezaako abalala.
Abasajja bano newankubadde balina obuyinza naye baddangayo e Yerusalemi okutegeeza abalala bonna abazibuddwa amaaso. Naffe tubeere n’ennyonta okutegeeza abalala.
5.YESU AJJA ERI ABO ABAMUYITA
Yesu n’ayagala okubayitako naye nebamugamba nti “Tuula naffe.”
•Yesu tatwesibaako, ayagala omuyiteayingire mu mutima gwo, mu makago, mu bizinensi yo, mu bibyo byonna. Kub. 3:20.
•Bw’ayingira byonna bisoboka gy’ali.
•Amaaso go gaali gazibuddwa okumanyaYesu ono ky’ali era ne kye yakukolera?
•Okimanyi nti atambula naawe eraayogera naawe?

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});