Poliisi evuddeyo n'erabula abantu ku ngeri y'okwewala okukubwa eggulu naddala mu biseera bino eby'enkuba.
Kino kiddiridde abantu 14 okukubwa eggulu ne bafiira mu nkambi y'abanoonyi b’obubudamu e Parabeke zzooni 8 mu disitulikiti y'e Lamwo ate abalala 34 ne batuusibwako ebisago eby’amaanyi.
Mu ngeri y'emu era mu Abimu disitulikiti , omuwala ow'emyaka 15, Sharon Akello yakubiddwa eggulu naye n'afa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke , agambye nti abantu tebateekeddwa kweggama nkuba nga bali wansi w'emiti.
Ayongeddeko nti omuntu okwewala laddu, alina okwekuumira munda mu bizimbe ate n'okwewala okusemberera ebyuma.
Awadde abatambulira ku mazzi amagezi , okweggama ku lukalu nti kuba amazzi nago ga bulabe.