Okulonda akalulu mu America kwa leero
Nov 05, 2024
LEERO ku Lwokubiri nga November 5, bannansi ba America lwe balonda Pulezidenti waabwe ow'e 47 mu butongole.

NewVision Reporter
@NewVision
WASHINGTON DC
LEERO ku Lwokubiri nga November 5, bannansi ba America lwe balonda Pulezidenti waabwe ow'e 47 mu butongole.
Kamala Haris.
Akalulu kano kali wakati w'eyaliko Pulezidenti w'ensi eyo, naggagga Donald Trump 78, nga y'akutte bendera ya banna Republican ng'attunka n'omumyuka wa Pulezidenti aliko, omukazi Kamala Haris 60, ku lw'ekibiina ekiri mu buyinza ekya Democratic Party.
We lutuukidde olwaleero ng'abantu obukadde 81 baamalirizza dda okulonda mu nkola eya 'Early Voting, abalonzi mwe balondera ng'olunaku olutongole terunnatuuka.
Donald Trump
Ssinga omukazi Muyindi-Muddugavu Kamala awangula akalulu kano, ajja kuba ayingidde mu byafaayo ng'omukazi anaaba asookedde ddala okufuga ensi eno etudde ku mitwe gy'ensi endala okumala ebbanga.
Mu kalulu ka bonna kayite 'Regular Vote', abalonzi abasoba mu bukadde 186 ssaako abalonzi ab'enkizo 538 abasalawo ani alya obwapulezidenti.
No Comment