Amawulire

Eggaali y’omukka etandise okusaabaza ab’e Mukono

LEERO ku Lwokubiri, eggaali y’omukka esaabaza abantu etandise okubasaabaza okuva e Mukono, Namanve okutuuka e Kampala n’okuddayo.

Eggaali y’omukka etandise leero okusaabaza abava n’abagenda e Mukono.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LEERO ku Lwokubiri, eggaali y’omukka esaabaza abantu etandise okubasaabaza okuva e Mukono, Namanve okutuuka e Kampala n’okuddayo.
Okusinziira ku pulaani y’entambula eyafulumiziddwa ekitongole ky’eggaali y’omukka,
yaakusimbulanga e Mukono ku ssaawa 12:30 ez’oku makya etuuke e Namanve ku 1:05 ez’oku makya ate etuuke e Kampala ku ssaawa 1:40 ez’oku makya.
Ate olweggulo yaakusimbulanga e Kampala ku ssaawa 11:30 etuuke e Namanve ku 12:05 ez’akawungeezi, olwo etuuke e Mukono ku 12:40.
Eggaali y’omukka ya kwongerangako olugendo olwokubiri olusimbula e Mukono ku ssaawa 12:50 ez’akawungeezi, etuuke e Namanve ku 1:25 ez’akawungeezi yeeyongereyo e Kampala gy’etuuka ku 2:00 ez’ekiro. Oluvannyuma ya kugattako olugendo olufundikiraolunaku ng’esimbula e Kampala ku ssaawa 2:10 ez’ekiro, etuuke
e Namanve ku 2:45, etuuke e Mukono ku ssaawa 3:10 ez’ekiro.
Akulira ekitongole ky’eggaali y’omukka ekya Uganda Railways Corporation, David Bulega Musoke, yategeezezza BUKEDDE nti, kino bakikoze olw’okwagala okukendeeza akalippagano k’ebidduka akabadde katawaanya ennyo abantu abakozesa
oluguudo lwa Jinja Road. Amalayo olugendo okuva e Mukono okutuuka e Kampala asasula 3,000/- ate ava e Namanve asasula 2,000/-.
Musoke yagambye nti, baataddewo ebifo eby’enjawulo abakozesa eggaali y’omukka eno mwe banaaviirangamu n’okugirindira omuli: e Kkolo, Namiryango
– Kisenyi, Nantabuulirirwa, Ccungu, Kyetume ne ku luguudo lw’e Katosi e Namumira, eggaali w’eneekomanga.