POLIISI ekutte omuyimbi Gloria Buggie eyayimba ‘Nyash’ ate era nga ye yali mu katambi akalaga omuwala eyeekola obusolosolo ng’ali bute.
Buggie yakwatiddwa ku Lwakusatu nga bukya ne bamaneja be n’atwalibwa ku poliisi ya Jinja Road gye yakoledde siteetimenti ku katambi akaasaasaanira eggwanga.
Gloria Buggie ng’amannya amatuufu ye Gloria Busingye, yaloopebwa omutegesi w’ebivvulu, Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abtex ng’agamba nti, akatambi k’obuseegu akamulaga, ali ng’eyagenderera okukafulumya okukabawaza abantu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza Bukeddenti, poliisi enoonyereza ku katambi ako okumanya kaakwatibwa katya, ani yakakwata, kigendererwa ki eryoke esalewo ekiddako.
Yategeezezza nti, Abtex essaawa eno akola nga mujulizi mu musango guno kubanga yakola ng’omuntu eyalaba akatambi n’akwatibwako n’aloopa.
Ekyo kibeera kitegeeza nti, Uganda bw’ebeera evunaana Gloria Buggie, Abtex w’akolera
ng’omujulizi eyalaba ensonga nti akatambi kaali kakyamu eri abantu.
Onyango agamba nti, omusango guno gwa kukozesa bubi mikutu gya yintanenti