Eby’okuziika Gabunga biwanvuye
Nov 20, 2024
ENTEEKATEEKA z’okuziika (okutereka) Omutaka w’Akasolya mu kika ky’Emmamba, Mubiru Zziikwa Gabunga zizzeemu enkyukakyuka oluvannyuma lw’olukiiko lw’abeddira Emmamba okufuna obubaka okuva e Mmengo nga babasaba babawe obudde obumala.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
ENTEEKATEEKA z’okuziika (okutereka) Omutaka w’Akasolya mu kika ky’Emmamba, Mubiru Zziikwa Gabunga zizzeemu enkyukakyuka oluvannyuma lw’olukiiko lw’abeddira Emmamba okufuna obubaka okuva e Mmengo nga babasaba babawe obudde obumala.
Katikkiro w’ekika, Kyobe Kyomubazi Kaberenge Gerald yasinzidde Kabowa mu maka g’omugenzi awaakumiddwa olumbe n’annyonnyola nti Gabunga takyaziikiddwa enkya ku Lwokuna nga bwe kyasoose okulangirirwa.
Gwo omukolo gw’okubikira abeddira Emmamba gwakoleddwa eggulo omutaka Ssebawuttu, nga kino kye kimu ku mitenderera egiyitibwamu mu nteekateeka ez’okuziika omukulu w’ekika, okusinziira ku katikkiro Kyomubazi.
Yagambye nti enteekateeka eddako ya kuggya omubiri gw’omugenzi gye gukuumirwa gutwalibwe mu maka ge e Kabowa. Wano w’anaggyibwa atwalibwe e Ssagala gy’anaagalamizibwa.
MMENGO Y’ETUWADDE EBIPIMO BY’ENTAANA Y’OMUTAKA
Katikkiro era yagambye nti Omutaka Gabunga Zziikwa waakuzikibwa mu nnyumba eyitibwa Busirike eri e Ssagala Buwaya. Eno y’ennyumba entongole Abataka b’Emmamba mwe bagalamizibwa era mu kiseera kino mugalamiddemu abataka musanvu abazze babula nga ne kitaawe w’omubuze, Yosiya Kasozi Gabunga muno mw’agalamidde.
Katikkiro yagambye nti Obwakabaka bwamaze okubawandiikira nga bubajjukiza ebirina okutuukirizibwa mu kuziika Omutaka. Mu bino mulimu okusima entaana etakka wansi wa ffuuti 15 okukka, ffuuti ttaano obuwanvu ate obugazi bwayo ffuuti munaana.
Buli ssiga mu kika kino lyakuleeta embugo ttaano. Gali amasiga 35. Buli mutuba kw’egyo omuva Omutaka omubuze n’omubbulukuse (omusika) baakuleeta embugo nnya. Giri emituba 23. Kuno kw’ossa ab’emikwano era tusuubira nga Omutaka waakugalamizibwa mu mbugo ezisukka mu 400
No Comment