Omuwendo gw'abakyala abatulugunyizibwa gukyali waggulu nnyo-Lipoota

Nov 26, 2024

ABABAKA ba palamenti ab’egattira mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’abakyala n’abaana abawala ekya UWOPA balaze obwennyamivu olw’emisango gy’okutulugunya abakazi egikyatudde mu ma kkooti awatali kuwuulira.

NewVision Reporter
@NewVision

ABABAKA ba palamenti ab’egattira mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’abakyala n’abaana abawala ekya UWOPA balaze obwennyamivu olw’emisango gy’okutulugunya abakazi egikyatudde mu ma kkooti awatali kuwuulira.

Okusinziira ku alipoota  eya National Survey on Violence 2022 eyakolebwa ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo, kyazuulibwa nga okutulugunya abakyala okuva eri abagalwa baabwe kuli ebitundu 45 ku 100 ate nga alipoota ya poliisi 2023 ey’emisango, bantu 15,184 bebawoona okuttibwa mu butabanguko nga 10,792 baali bakyala.

Alipoota era yalaga nga abantu 249 battibwa olw’obutabanguko obulimu okukozesa eryanyi n’ebissi era nga ku bano 113 baali bakyala nga 95 baali basajja.

Amyuka ssentebe wa UWOPA era nga ye mubaka omukyala ow’e Luwero Brenda Nabukenya agambye wakyaliwo olutalo okulaba nga ebikolwa bino bikomezebwa eri abakyala.

Aba UWOPA

Aba UWOPA

Omubaka omukyala ow’e Bukwo Evelyn Chemutai agambye mukadde kano nga batongoza ennaku 16 ez’okulwanyisa ebikolwa ebyambyone ebituusibwa ku bakyala n’abaana abawala, basanye okuba absaale mukubivumirira kubanga abantu bangi omuli n’abebitiibwa batuugunyizibwa eyo naye nebatya okuvaayo okwogera.

Omega Aloyo, akulira eby’empuliziganya ku FIDA agambye yadde nga Uganda ebaze emateeka magi okulaba nga balwanyisa obutabanguko, wakyaliwo omuwaatwa okulaba nga amateeka gano gakolera ddala negayamba abantu.

Paul Buzibwa okuva mu Centre for Domestic Violence Prevention agambye nti buli muntu musaale okulaba nga abakyala n’abaana abawala baweebwa ekitiibwa kyabwe so sikuyisibwa nga bya ku ttale omuli n’okubasiiya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});