Abakolera ku Pentagon y'omugagga Drake Lubega baggadde amaduuka nga bawakanya okubongeza ssente z’obupangisa

Dec 03, 2024

Bano baakedde ku Lwokubiri ne baggala amaduuka nga bagamba nti yabongezza ebitundu 10 ku 100 buli mwezi ze bagamba nti zisusse

NewVision Reporter
@NewVision

ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe ky’omugaggaa Drake Lubega ekya Pentagon baggadde amaduuka gaabwe nga bawakanya okubongeza ssente z’obupangisa ne balumba ofiisi ze abannyonnyole kwe yasinzidde okukola kino ssaako okuwuliriza ensonga endala ezibanyiga.

Bano baakedde ku Lwokubiri ne baggala amaduuka nga bagamba nti yabongezza ebitundu 10 ku 100 buli mwezi ze bagamba nti zisusse so nga ate alina n’abalala be yasibidde amaduuka n’okutwala ebintu byabwe.

Abasuubuzi Nga Balaga Ssekitto Amadaala Agaateereddwa Mu Kizimbe Kino.

Abasuubuzi Nga Balaga Ssekitto Amadaala Agaateereddwa Mu Kizimbe Kino.

Kino kyawalirizza poliisi okuyiwa abaserikale baayo okukkakkanya embeera n’okulaba nga abasuubuzi tebakola ffujjo na kwonoona bintu.

Omu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kino,Brian Ssemanda yagambye nti Omugagga Lubega yabongezza ssente z’obupangisa nga kino yakikola omwaka oguwedde 2023 ate era na guno  azzeemu n’ayongeza so nga embeera y’ebyenfuna n’obusuubuzi tebikyatambula bulungi.

Yagambye nti era Omugagga Lubega yayongedde n’akookera amadaala mu kizimbe n’assaako obuyumba bwe bagamba nti buno tebwali ku ppulaani ya KCCA.

Ssekitto Ngágenda N'ábamu Ku Baavudde Ku Kizimbe Kya Pentagon Okugenda Ku Ofiisi Zómugagga Drake Lubega.

Ssekitto Ngágenda N'ábamu Ku Baavudde Ku Kizimbe Kya Pentagon Okugenda Ku Ofiisi Zómugagga Drake Lubega.

Omwogezi wa KACITA, Issa Ssekitto yagenzeeyo okuwuliriza ensonga zaabwe era n’abategeeza ng abwe yayogedde n’omugagga n’abaako ebintu by’amugamba. Baamulambuzza ekizimbe ne bamulaga amadaala agaateereddwa mu kizimbe n’obuyumba.

Ssekito yagambye nti olukiiko lw’abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino lwamusabye okubakulembera bagende mu KCCA okulaba oba amadaala agaateereddwamu mu kizimbe gali ku ppulaani, bwe gaba tegali, gaggyibwemu ate eky’okwongeza rent n’abagamba nti kiri mu mateeka.

 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});