Amawulire

Ssaabasumba Paul Ssemogerere akulisizza Chrysostom Bbosa okuweza emyaka 60 mu bufumbo o

N'okutuusa kati abantu b’okukyalo ky’e Buyijja, mu Gombolola y’e Buwama, mu disitulikiti y’e Mpigi bakyaali mukujaganya olwa mutuuze munnaabwe, Omutaka John Chrysostom Bbosa Kyakulagira ne mukyala we Teopista Zawedde Bbosa okuweza emyaka 60 mu bufumbo obutukuvu

Ssaabasumba ng'ali n'abagole
By: Mathias Mazinga, Journalists @New Vision

Nokutuusa kati abantu b’okukyalo ky’e Buyijja, mu Gombolola y’e Buwama, mu disitulikiti y’e Mpigi bakyaali mukujaganya olwa mutuuze munnaabwe, Omutaka John Chrysostom Bbosa Kyakulagira ne mukyala we Teopista Zawedde Bbosa okuweza emyaka 60 mu bufumbo obutukuvu.

kkwaaya eyayimbye mmisa

kkwaaya eyayimbye mmisa

Omukolo gw’okujaguza gwabadde mu maka gaabwe e Buyijja, okumpi n’e Mitala-Maria. Gw’atandise n’e mmisa ey’okwebaza, eyakulembeddwa Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere, mu Klezia y’ekisomesa kya St Kizito Kibenge. Missa yeetabiddwako Abasaserdooti abawereako, okwabadde ne Bwanamukulu w’e Mitala-Maria, Faaza Francis Xavier Kikomeko, ne Ssenkulu wa Seminario enkulu ey’e Katigondo, Fr David Ssenkaayi.

Bweyabadde ayigiriza, Ssabasumba Ssemogerere yeebazizza Bbosa Kyakulagira nemukyalawe Teopista olw’okuwa Abakristu eky’okulabirako ekirungi eky’obufumbo obutukuvu, okuzaala abaana, okubasomesa, okubagunjula obulungi mu mpisa, n’okubasomesa eddiini.

Ebikujjuko

Ebikujjuko

Yanokoddeyo omu ku baana, Ssejjuuta Kizito Bbosa, ng’ono ye Director of Operations, Higher Education Students Financing Board, gweyagambye nti muntu wa buvunaanyizibwa, era agasizza nnyo eggwanga.

 “Ssinga tubuuza John Chrysostom ne Teopista ekibayambye okuwangaaza obufumbo bwabwe, bajja kututegeeza nti buli omu abadde aguumiikiriza munne, ate nga bombi bagezaako okugoberera amateeka ga Katonda. Tubakulisa era tubeebaza,” Ssabasumba bweyagambye.

Ssabasumba y’asabye Abakristu okutwala eky’okulabirako ky’abajaguza (Babbosa), ngabakuuma ekitiibwa ky’obufumbo, ngabakola emirimo egyibawa ensimbi, era nga bagunjula bulungi abaana baabwe, ab’obulenzi n’ab’obuwala.

Ssabasumba y’asiimye abajaguza n’abaana baabwe olw’okukulemberamu kaweefube w’okuzimba Klezia y’ekisomesa ky’e Kibenge, mukiseera kino gyebaakateekamu obukadde bw’ensimbi za Uganda obusoba mu 30.

Abajaguza, John Chrysostom nemukyalawe Teopista beebazizza Abakristu, ab’oluganda n’ab’emikwano olw’okubaagala n’okubasabira.

Sssabasumba n'abagole

Sssabasumba n'abagole

Omukolo gwetabiddwako abanene bangi okwabadde Vice-Chancellor wa Victoria University, Prof Lawrence Muganga, omubaka akiikirira Kinkizi West mu Paalamenti James Kaberuka, abaatonye ensimbi okuwagira omulimo gw’okuzimba Klezia y’e Kibenge

Omukolo gw’afunye ekitiibwa eky’enjawulo olw’okubeerawo kw’omukulu w’ekika kye Ndiga, Lwomwa Eria Lwazi Buzaabo naye eyatenderezza Kizito Bbosa nemukyalawe Teopista olw’okukuuma ekitiibwa ky’obufumba, okugunjula obulungi abaana, ate n’okuzimba Obuganda ngabayita mukukola.