Amawulire

KCCA emenye emidaala ku Kafumbe Mukasa

KCCA emenye ekifo ku Kafumbe Mukasa ekibadde kikoleramu abasuubuzi abawera 100. Ekifo kino kibaddemu okusinga abasala endiboota n’abalejjesa engoye z’emivumba, abatunda ebyokulya ebisiike omuli; enkoko n’ebyennyanja, abakanika pikipiki n’obugaali.

KCCA emenye emidaala ku Kafumbe Mukasa
By: Samuel Balagadde ne Hannington Nkalubo, Journalists @New Vision

KCCA emenye ekifo ku Kafumbe Mukasa ekibadde kikoleramu abasuubuzi abawera 100. Ekifo kino kibaddemu okusinga abasala endiboota n’abalejjesa engoye z’emivumba, abatunda ebyokulya ebisiike omuli; enkoko n’ebyennyanja, abakanika pikipiki n’obugaali.

Abasuubuzi bano baali baaweebwa nsalessale okukyamuka wabula abasinga ne beesisiggiriza. Ku Lwomukaaga abakozi ba KCCA baakedde kuzinda kifo kino ne bamenyawo emidaala gyonna. 

Obudaala Obwamenyeddwa

Obudaala Obwamenyeddwa

Moses Mugerwa, omu ku basuubuzi ababadde bakolera mu kifo kino yagambye nti, wadde baabalabula okuvaawo naye tebalina gye balaga kubanga ebifo KCCA by’eyogerako nti, biri mu butale obw’enjawulo, batuuseeyo nga tebiriiyo.

Wabula omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabiine yagambye nti, abasuubuzi bano batutte ekiseera nga babalabula okuva mu kifo kino era abamu baavaawo dda.