Omukozi w’essomero atemyetemye eyaliko muganzi we ng’amulanga kulya 'busente bwe' ate n’agaana okumuddira
Dec 12, 2024
Abakozi abakola ku ffaamu y’essomero lya St. Theresa Namilyango Girls Boarding P/S mu Mukono, abasomesa n’abalikulira baguddemu encukwe omu ku bakozi bwe yeesuddemu akalogojjo n’akkira maneja wa ffaamu y’essomero n’amutemaatema

NewVision Reporter
@NewVision
Abakozi abakola ku ffaamu y’essomero lya St. Theresa Namilyango Girls Boarding P/S mu Mukono, abasomesa n’abalikulira baguddemu encukwe omu ku bakozi bwe yeesuddemu akalogojjo n’akkira maneja wa ffaamu y’essomero n’amutemaatema bya nsusso oluvannyuma naye ne yeesala obulago n’afa.
Henry Ssaabakaaki Agambibwa Okutema Namwanje
Amyuka omukulu w’essomero lino, erisangibwa mu diviizoni y’e Goma, Rose Namirembe ategeezezza nti Henry Ssaabakaaki y’atemye maneja wa ffaamu y’essomero amanyiddwa nga nga Maurine Namwanje.
Namirembe agambye nti oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’ekikangabwa kino, bakozi bannaabwe bayoddeyodde Namwanje ne bamuddusa mu ddwaliro lya Mukono General Hospital e Mukono abasawo gye bamuweeredde obujjanjabi obusooka oluvannyuma ne bamwongerayo mu ddwaliro eddene e Mulago.
Namwanje Ng'abasawo Bamukolako.
Ono ategeezezza nti oluvannyuma abakozi babakanye n’omuyiggo gwa Ssaabakaaki kyokka bamuguddeko mu ffaamu ng’aboyaana oluvannyuma lw’okwesala obulago.
“Bayise poliisi emututte naye mu ddwaaliro lya Mukono General Hospital okumuwa obujjanjabi wadde ng’ate oluvannyuma batutegeezezza nti mu kiseera kitono amaze n’afa,” bw’agambye.
Muganda wa Namwanje bwe bakedde okugenda mu nnimiro okukola, Irene Nagawa ategeezezza nti Ssaabakaaki abasanze mu nnimiro nga bakedde okusalira ebitooke n’asooka ayimirira n’abatunuulira okumala eddakiika nga satu ng’emikono agizingidde emabega era tebategedde nti abadde akutte jjambiya.
Nagawa agambye nti Ssaabakaaki ne Namwanje baali baagalana kyokka omukazi n’akyawa omusajja wadde ng’okumala akabanga era abaddenga amwegayirira baddingane naye nga Namwanje yagaana.
Namwanje Gwe Baatemyetemye
“Ndabye ayimiridde talina ky’anyega ne mmugamba nti omukazi bw’aba yamugaana okumuddiramu amwesonyiwe naye ye n’agamba nti k’amwegambire.
Nga n’akataayi tekannasala, ngenze okutunula emabega nga ndaba Ssaabakaaki atema Namwanje ejjambiya esooka, nziruse nga bwe nkuba enduulu nga nsaba bajje bamutaase naye tugenze okukomawo ng’amutemye nnyo ng’avaamu omusaayi mungi nga ye adduse,” bw’annyonnyodde.
Abasawo Nga Batwala Namwanje Mu Ambyulensi Okumwongerayo Mu Ddwaliro Ekkulu E Mulago.
Mu siteetimenti gy’akoze n’abasirikale b’e Seeta, Nagawa agambye nti ekiro ekyakeesezza ku Lwokuna, Ssaabakaaki yamukubidde n’amutegeeza nga Namwanje bw’amuliiridde ssente ze nnyingi nnyo ate n’amala n’amukyawa ng’agaanye baddingane.
“Yagambye nti yatunda ne ppoloti ye n’embizzi nga zonna ssente Namwanje ng’alya kyokka n’amusaba baddingane n’amugaana. Yagambye nti mu bbanga ttono agenda kumutuusaako obulabe. Nnamusabye amwesonyiwe naye nga tabiwulira,” bwe yategeezezza.
No Comment