KITATTA:Ani amuwa amaanyi g’aleese mu katale k'e Busega?

Dec 16, 2024

ABDALLAH Kitatta eyali akulira akabinja ka bodaboda 2010 akaali ak'omutawana akomeddewo mu maanyi nga kati amakanda agasimbye mu katale k’e Busega akapya.Kitatta, asinga kujjukirwa wakati wa 2011-017 bwe yajojobya aba bodaboda abaali batalina kaadi za Bodaboda 2010 n'okuyigganya abantu abaali batawagira NRM n'atuuka n'okukuba obwana bw'essomero obwali bwesibye obuwero obumyufu nga bugenda kuyimba.

NewVision Reporter
@NewVision

ABDALLAH Kitatta eyali akulira akabinja ka bodaboda 2010 akaali ak'omutawana akomeddewo mu maanyi nga kati amakanda agasimbye mu katale k’e Busega akapya.
Kitatta, asinga kujjukirwa wakati wa 2011-017 bwe yajojobya aba bodaboda abaali batalina kaadi za Bodaboda 2010 n'okuyigganya abantu abaali batawagira NRM n'atuuka n'okukuba obwana bw'essomero obwali bwesibye obuwero obumyufu nga bugenda kuyimba.
Ebiseera ebyo, Kitatta amaanyi yagaggyanga wa Gen. Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi kyokka ebintu byamwonoonekera mu January 2018 bwe yakwatibwa n’asibwa mu kkooti y'amagye ku misango gw’okubeera n’emmundu mu ngeri emenya amateeka n'akaligibwa emyaka 8 n'emyezi mukaaga mu kkomera kyokka n'ayimbulwa mu 2020 oluvannyuma lw'ekibonerezo kye okukendeezebwako.
Emyaka 4 eyise, Kitatta abadde tawulikika naye kati asitudde buto era amaanyi n'obukambwe bye yalina, bibbulukukidde mu katale e Busega. Alina obuyinza buyitirivu, y’asalawo ayingira oba okufuluma akatale era buli muntu amutya omuli poliis ne bannabyabufuzi!
Abamu ku balozezza ku bukambwe bwa Kitatta ye mubaka wa Lubaga South, Aloysious Mukasa ne RCC wa Kampala, Jane Asiimwe Muhindo. Mukasa bakifeesi bamutwalaganyizza nga mubbi n’okumufuntula agakonde bwe yabadde agenzeeyo okuwuliriza okwemulugunya kw’abasuubuzi. Mukasa alumiriza Kitatta okumuwendulira bakifeesi olw’okutya nti abantu baabadde bagenda kumwanika olw’engeri gy’abatulugunyaamu okuli eky’okubaguza emidaala mu katale ka Gavumenti n’okusuula abantu abaasangibwa mu kifo kino nga balina endagaano ne KCCA.
Bino byali kye bijje bibeewo, abavubuka be bamu nga bakulembeddwaamu Kitatta yennyini ne baakola effujjo ku RCC wa Kampala bwe yali mu katale n’abakungu ba KCCA okuwandiisa abasuubuzi abafuna emidaala. Baamusalako ne bamulagira okwamuka akatale nga bagamba nti yali tabategeezezza ku bye yali akola. Baamusibira mu ofiisi ne bamulemesa okwogerako eri abasuubuzi.
ENGERI KITATTA GY’AYINGIRA
MU NSONGA Z’AKATALE
Okusinziira ku bbaluwa Bukedde gye yafunyeeko, minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda gye yawandiika nga November 27, 2024, yalagira RCC wa Kampala okusengula abasuubuzi b’e Busega okubaggya mu katale akakadde bayingire akapya.
Yalamulagira okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky'okulaba ng'abasuubuzi bonna, abatembeeyi n’abattakisi bava ku luguudo. Kabanda yalagira Muhindo okumuwa lipooti oluvannyuma lw’omulimu.
RCC agamba nti yakwatagana n’abakulira ebitongole by’abasuubizi ab'enjawulo ne bakkaanya ku ngeri gye balina okusengulamu abasuubuzi mu mirembe era bakkaanya okukikola mu budde bw’ekiro.
Ayongerako nti minisita Kabanda era yamulagira mu bigambo okukwatagana ne Kitatta okukola omulimu guno kyokka teyamanya nti ono baali bamuwadde obuyinza ku katale konna.
Muhindo yalabudde nti singa ensonga y’abantu abaasasula obuyumba tekwatibwa bulungi, Gavumenti eyolekedde okuliwa kuba endagaano zino zaakolebwa wakati w’abasuubuzi ne KCCA.
Ssentebe w’akatale kano, Charles Bugembe yagambye nti kituufu waliwo abalina endagaano eziriko omukono gwe n’abakungu ba KCCA kyokka ensonga za bano zaakukolwako. Ku by’amaanyi Kitatta g’ayolesa, Bugembe agamba nti embeera ya mirembe mu katale era ng’ono akola mulimu gwe nga ssentebe wa NRM. Obuzibu abutadde ku bannabyabufuzi abaagala okukozesa akatale ku mizannyo gyabwe.
Nga November 28, minisita Kabanda bwe yali alambula akatale yeebaza Kitatta ne RCC olw’okuyingiza abasuubuzi mu katale mu mirembe. Okuva akatale lwe kaayingirwa, buli lunaku endooliito zeeyongera nga zeekuusa ku lyanyi Kitatta ly’akozesa, bakifeesi be yaleeta abamu n’abawa n’emidaala, okutiisibwatiisibwa, abasuubuzi okugobwa ku midaala n’ebirala.
KITATTA ANNYONNYODDE
Mu kuyingira akatale Kitatta yategeeza ng’abantu bonna abaatandika akatale kano bwe baasaasaana nga kati yasigalawo bw’omu era nga tayinza kukavaamu kukalekera bamafia.
Yeegaanyi okubeera emabega wa bakifeesi abalumba abakulembeze n’agamba nti abakulembeze ab’enjawulo bazze balambula akatale kano mu mirembe lwaki abamu balowooza nti bo ba kitalo. Yalumirizza Mukasa ne RCC obutassa kitiibwa mu bukulembeze bw’akatale nga tebaabategeeza ky’agamba nti kitaataaganya emirimu.
RCC ALAZE EMIVUYO MU KATALE
Muhindo agamba nga November, 29, abantu abaakola endagaano ne KCCA, baayingirawo nga bano beegattibwako abatembeeyi.
Alumiriza Kitatta okugabira abantu obuyumba n’emidaala nga tagoberedde mitendera mituufu nga kino yakikola ku wiikendi nga yagenda okuddayo ku Mmande ng’emidaala egisinga gyagabiddwa dda.
Oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya, yasalawo okukwatagana n’aba KCCA okuwandiisa abasuubuzi abaali bafunye emidaala bamanye ebibakwatako kyokka bwe baali baakawandiisaayo abasuubuzi babale, Kitatta n’ayingirawo n’ogubinja gwe ne babalemesa.
Muhindo ayagala minisita Kabanda alung’amye obuvunaanyizibwa bwa Kitatta mu katale n’asaba Kaliisoliiso wa Gavumenti okuyingira mu nsonga zino.
LOODI MMEEYA ALAZE
EKIRINA OKUKOLEBWA
Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago yategeezezza nti singa Gavumenti eva mu by’obutale ne birekera abasuubuzi, emivuyo gyakukendeera.
Yagambye nti Kitatta amaanyi g’ayolesa si gage ng’omuntu, alina abanene abamuli emabega era y’ensonga lwaki teri amukwatako.Lukwago agamba nti kikyamu ne KCCA okufuga obukulembeze b’obutale kuba abasuubuzi be bamanyi embeera ze bayitamu.
Yavumiridde engeri abasuubuzi gye baayingiramu akatale gy’agamba nti yalimu obwannakigwanyizi okuva ewa nnannyini ttaka Andrew Kawuki ng’akolagana ne Kitatta n’abalala.
KALIISOLIISO ATANDISE
OKUNOONYEREZA
Kaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya ku Lwokusatu yalambudde akatale kano n’asisinkana n’abasuubuzi okuwuliriza okwemmulugunya kwabwe.
Yategeezezza nti ttiimu ye ebadde mu katale ng’ekola okunoonyereza ng’ebizuuliddwa byakugattibwa ku bivudde mu basuubuzi afulumye lipooti ejjudde. Kamya yagambye nti tewali akkirizibwa kuggya ssente ku muntu yenna amuwe omudaala oba okugumupangisa.
Ezimu ku nsonga abasuubuzi ze baamuloopedde kuliko eky’abagagga ababagobaganya ku midaala abatamanyiddwa mu kitundu, abaali bannannyini midaala awali akatale abataafunye nga kawedde, embeera embi ey’emidumu egitambuza kazambi n’ebirala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});