Omugagga Mugalaasi amezze Ntaganda mu musango gw'ettaka ogubadde gumaze emyaka 18

Dec 16, 2024

Omugagga Pius Mugalaasi nnannyini paaka ya ttakisi ku luguudo lwa Namirembe amezze mugagga munne Ephrahim Ntaganda mu musango ogumaze emyaka 18 nga battunka

By Hannington Nkalubo
Journalist @New Vision

Omugagga Pius Mugalaasi nnannyini paaka ya ttakisi ku luguudo lwa Namirembe amezze mugagga munne Ephrahim Ntaganda mu musango ogumaze emyaka 18 nga battunka ku bwannannyini bw’ettaka okuli ebizimbe mu Kisenyi.

Omulamuzi Suzan Kanyange owa Kkooti Enkulu ekola ku byettaka mu nsala gye yawadde ku Lwokuna nga December 12, 2024, yalagidde nti ebizimbe ebiri mu poloti 1629, 1636, 1637, 1638, 1639, 1640 ne 1641 mu kibuga bbulooka 12 byonna byazimbibwa mu luguudo.

Omulamuzi Kanyange (ku Ddyo) Lwe Yalambula Ettaka Lye Bakaayanira. Mugalaasi Ng’amulaga Ebiwandiiko Ng’addiriddwa Ye Ntaganda.

Omulamuzi Kanyange (ku Ddyo) Lwe Yalambula Ettaka Lye Bakaayanira. Mugalaasi Ng’amulaga Ebiwandiiko Ng’addiriddwa Ye Ntaganda.

Nti awo lyali kkubo erituuka ku ttaka lya Mugalaasi kati omuli ppaaka ya ttakisi n’ebizimbe bye ebiri mu poloti 213 era baaliziba.

Kkooti yasazeewo nti Ntaganda ne KCCA baliyirire Mugalaasi obukadde 800 olw’okumutaataaganya n’okumulemesa okukulaakulanya ku ttaka lye nga bwe yali ayagala.

Omulamuzi era yalagidde nti Ntaganda ne KCCA baliyirire Mugalaasi ssente zonna z’akozesezza mu musango.

Mu musango guno, Mugalaasi teyakomye ku kuwangula Ntangana ne KCCA wabula yawangudde n’abantu abalala musanvu: David Mugomba, Janat Mugomba, Jamir Kayemba, Rose Kulabako, Henry Ssemugooma Akalyamaggwa, Francis Kakumba nga bano Ntaganda yabaguza Poloti mu bumenyi bw’amateeka.

Ettaka lino erimaze ebbanga nga likaayanirwa lisangibwa ku luguudo oluyitibwa Mugalaasi Road. Kuliko ebizimbe eby’amaanyi okuli; amaduuka, wooteeri n’ebbaala.

Kuno kuliko ebizimbe ekinene ng’ekya Sisa Complex ekitunudde mu ppaaka ya bbaasi eya Kisenyi Bus Terminal, Denovo Arcade n’ebirala ebisoba mu bisatu kyokka nga kkooti yalagidde nti byonna byazimbibwa mu luguudo.

Enkaayana wakati wa Mugalaasi ne Ntaganda zaatandika mu 2006 ng’ettaka lya Mugalaasi lyali ku poloti 213 e Mengo Kisenyi ng’ekyapa kiva mu poloti 6 eyasookawo oluvannyuma gye baatwala ne batemamu poloti bbiri okuli 204 ne 215.

Omulamuzi mu nsala ye yalaze nti Ntaganda yakuba ebbaati mu poloti 215 eyali ey’ekkubo n’asibirayo abalala era n’asaba ppulaani mu KCCA azimbeko ebizimbe eby’obuwangaazi.

Nga August 28, 2006, KCCA yawandiikira Ntaganda ng’emuyimiriza okuzimba olwa Mugalaasi okwemulugunya kyokka n’agenda mu maaso n’okuzimba.

Mugalaasi yaloopa mu kkooti n’emuwa ekiragiro ekiyimiriza Ntaganda okuzimba. Kyokka yagenda mu maaso n’omulimu.

Ebiwandiiko biraga nti Ntaganda wakati mu lutalo lwa kkooti, yagenda mu maaso n’asalaasala poloti 215 n’akolamu poloti endala okuli; 1629, 1636, 1637, 1638, 1640 ne 1641 n’atandika n’okutunda.

Omulamuzi yalaze nti poloti 1640 ekyapa yakissa mu mannya ga David Mugomba oluvannyuma ne kigenda mu Janat Mugomba era bonna Mugalaasi yabawaabira.

Ate poloti 1629, n’agikyusa mu mannya ga Jamir Kayemba ate naye eyakyusa ekyapa ne kigenda mu mannya ga Francis Kakumba.

Poloti endala okuli; 1636, 1637, 1638, ne 1639 n’aziteeka mu Rose Kulabako ono yazisinga mu bbanka ya Stanbic n’emuwola ssente ezaamulema okusasula banka n’ebowa ebizimbe n’ebiguza Henry Ssemugooma Akalyamaggwa. Kkooti eraga nti Ntaganda yeerekerawo poloti emu nnamba 1641.

Mugalaasi, azze yeemulugunya ku KCCA nti baazibirayo ebizimbe nti ne ppaaka ya ttakisi terina kkubo.

Yalaajanira aba KCCA bamutaase ng’abamu ku bakulu mu KCCA bagamba nti balinda nsalawo ya kkooti n’ebiragiro by’eneewa mu musango guno era yagusaze wiiki ewedde.

Mugalasi yategeeza kkooti nti yali agenda kuzimbawo ebizimbe kyokka ekkubo lye ne baliziba nti ne bbaasi wadde mmotoka ennene tezisobola kutuukayo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});