Amawulire

Mutabani wa Chameleone ayasizza ebyama ku kitaawe

OMWANA akikoze kitaawe, Jose Chameleone, bw’ayasizza ebyama ku bulwadde bwe n’okulumba abamunyunyunta.

Chameleone ne mutabani we Abba.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMWANA akikoze kitaawe, Jose Chameleone, bw’ayasizza ebyama ku bulwadde bwe n’okulumba abamunyunyunta.
Abba Marcus Mayanja 21, yatabudde embeera y’obulwadde bwa kitaawe bwe yatadde akatambi ng’alangira kitaawe ettamiiro, okukozesa ebiragalalagala n’ebirala mu katambi ak’eddakiika ettaano ne sikonda 21.

Yayatulidde ne bajjajjaabe, Prossy ne Gerald Mayanja, be yagambye nti talabanga ku bazadde batafaayo ku bulamu bwa mwana waabwe nga bo bwe batafaayo ku bulamu bwa mutabani waabwe, Chameleone.
“Sirabanga bazadde bagayaavu ng’aba kitange, naakafiirwa ba taata bange babiri olwa bajjajja bange obutaba na buvunaanyizibwa.” Abba bwe yagambye.
Mzee Mayanja gwe twayogedde naye ku ssimu yawulikise nga mwennyamivu olw’ebigambo bya muzzukulu we era nga byamukubye wala.
Yasoose kutusoya kajogijogi wa bibuuzo ku bbanga lye tumala nga tetukyalidde ku bazadde baffe ekintu ekiraga nti ne Chameleone ayinza okuba ng’amala ebbanga nga tamulabako era nga tamanyi bimukwatako.
Ekyokubiri yatubuuzizza oba ng’omwana bw’akula n’ava awaka omuzadde abeera akyamulinako nnyo obuyinza obumukugira okukola n’okugenda w’ayagadde.
Yasinzidde wano n’atwanukula nti Chameleone muntu mukulu eyeesalirawo mu buli kimu era nti ye tasobola kubeera ng’amulondoola mu bidongo n’ebbaala gy’abeera agenze okumugaana okunywa by’ayagala.
‘Osuubira nze eyeebase ewange ku ssaawa 5:00 ate okubeera mu Silk nga ndaba Chameleone ali mu kunywa nkimugaane!” Muzei Mayanja bwe yagambye.
Yagasseeko nti ebyayogeddwa muzzukulu we Abba , tebiriimu makulu era ky’ova olaba ne ku ‘Social media’ gye yabitadde abantu bangi babawolereza bo nga abazadde.
Mu katambi ke yatadde ku mukutu gwa tiktok, Abba yasabye abantu okulekeraawo okunenya nnyaabwe (Daniela Atim) nti y’avuddeko embeera ya Chamilli okwongera okwonooneka.
Yagambye nti kuva buto akuze alaba kitaawe ng’atawaanyizibwa omwenge era essaawa eno omwenge ye kanaaluzaala w’ebirwadde byonna ebimumalawo kyokka nti n’abasawo bwe baamugamba okugukendeeza yeerema.
Abba yagambye nti ekyamukozeseza akatambi ako yabadde ayagala abawagizi ba Chamilli n’abamwagaliza ebirungi bamanye nti abasawo baabategeza nti kitaawe bw’agenda mu maaso n’okunywa ennyo omwenge nga bw’akola kati agenda kuba asigazzaayo emyaka 2 gyokka ku nsi.
Yasabye abantu abamusisinkana yonna gy’atambulira okumujjukiza nti abantu bakyamwagala era yategeezezza abategesi b’ebivvulu abamukozesa newankubadde nga balaba embeera gy’alimu nti balindirire ekijja nti kubanga abantu abamu baagala kukozesa abalala kutuusa kubalaba nga bafudde.
Robert Nkuuke (Mutima) ng’ono ye maneja wa Chamilli naye yawakanyizza Abba by’ayogera nti abantu abali Chameleone okumpi tebamufaako. Yagambye nti singa babadde tebamufaako yandibadde ali waka naye eky’okuba nti ali mu ddwaaliro afuna bujjanjabi kiraga bamufaako ddala.
Ku by’okupiika Chameleone emirimu ate nga mulwadde, Mutima yagambye nti ekyo ssi kituufu kubanga emirimu gyonna egibaddewo yagifuna mulamu nga tebakutteeyo mulimu gwonna nga Chamilli mulwadde.
Ku by’okugaana Bobi Wine ne King Saha okulaba Chameleone mu ddwaaliro, Mutima agamba bano bajja mu budde bukyamu kubanga eddwaaliro lirina obudde mwe balina okulambulira abalwadde era yagambye nti tewali muntu yenna gwe bagaana kulaba Chamilli.

Tags: