Amawulire

Ab'e Kikyusa si bamativu n'ebimotoka ebinene ebiboonoonedde amakubo

ABATUUZE mu disitulikiti y’e Luweero bennyamivu olwa loole ezitikka ebizito eza Sino truck okuwomoggola enguudo zaabwe ekikosezza emirimu, entambula n'ebyenfuna.

Ab'e Kikyusa si bamativu n'ebimotoka ebinene ebiboonoonedde amakubo
By: Samuel Kanyike, Journalist @New Vision

ABATUUZE mu disitulikiti y’e Luweero bennyamivu olwa loole ezitikka ebizito eza Sino truck okuwomoggola enguudo zaabwe ekikosezza emirimu, entambula n'ebyenfuna.

Tulakita Eyazze Okulima Ekkubo N'etubira Mu Ttosi.

Tulakita Eyazze Okulima Ekkubo N'etubira Mu Ttosi.

Loole ezisomba omusenyu n'amayinja ziwomogodde enguudo ezisinga mu byalo omuli ezibadde zaakamala okulimibwa nti kyokka bannannyini mmotoka zino bwe babagambako tebeefiirayo nga bagamba nti nabo bakozi bukozi.

Abatuuze bagamba nti eby'amaguzi byabwe omuli ennannansi, emmere omuli amatooke, n'ebirala bibadibyeko kuba emmotoka ezibinona tezikyasobola kutuuka mu bitundu enguudo gye ziwomoggoddwa.

Bbooda Ezeetisse Amanda Mu Kkubo Nga Bazisindika Busindisi.

Bbooda Ezeetisse Amanda Mu Kkubo Nga Bazisindika Busindisi.

Yategeezezza era nti ebisale by'ennyambula birinnye, abalwadde boolekedde okubafaako, ababbi babateega mu makubo agaawomoggoka ne bababba n'ebiibi ebirala ebiva ku nguudo okuwomoggoka.

Wiiki ewedde, minisita omubeezi avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu yatuseeko ku luguudo oluva e Ziroobwe okudda e Kikyusa olwayonoonese n'alulambula n'ategeeza nga bw’agenda okutuukirira minisitule y'ebyenguudo basale mangu amagezi abantu bawone okubonaabona.

Yategeezezza nti enkuba ebadde efukumuka  y'eyonoonye enguudo zino nga batandise okuziddaabiriza zifuuke kawerette

Tags:
Luweero
Kikyusa
Loole
Sino Truck
Makubo