Omuliro gwokezza ababadde basaanuusa ebyuma ne basigala nga bataawa
Jan 11, 2025
ABAKOZI 9 aba kkampuni ya Tembo Steels Ltd e Iganga baddusidwa mu ddwaliro ng’embeera mbi oluvannyuma lw’entamu esaanuusa ebyuma okubwatuka n’ebookya mu ngeri ya kibwatukira.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKOZI 9 aba kkampuni ya Tembo Steels Ltd e Iganga baddusidwa mu ddwaliro ng’embeera mbi oluvannyuma lw’entamu esaanuusa ebyuma okubwatuka n’ebookya mu ngeri ya kibwatukira.
Bana ku bano be baasinze okukosebwa era ebyuma bye baabadde basaanuusa n’omuliro byabookezza omubiri ne mu maaso ate abalala ne bafuna ebisago ebitonotono.
Ono Kyamwokezza Ffeesi.
Ku bano, 4 abaafunye ebisago eby’amaanyi era mu kiseera kino tebategeerekeka. Ku bano kuliko Ashraf Sserwadda, Fred Wanyanga, Joel Hamala ne Ronald Muzaya.
Abalala abaasimattuse n’ebisago kuliko Henry Kabila, Ayub Isabirye, Abdalah Igaga ne Paul Odongo.
Ono Kyamwokezza Omukono.
Kabila omu ku baakoseddwa era akulira bakozi banne mu kifo kino yategeezezza nga bwe beekanze obwekanzi ng’ebyuma bibwatuka nga batandika okubisaanuusa.
Agasseeko nti olwalabye okubwatuka ate nga ebirala bikyaggya kwe kudduka mu kifo kino okwetaasa kyokka omuliro n’ebyuma ebyabadde bimaze okusaanuuka ne bibasammukira wakati mu kavuyo nga baddukawo.
Maneja wa kkampuni eno, Francis Barasa ategeezezza nti tewali mukozi yenna yafiiridde mu kabenje kano ke yeesigamizza ku bakozi bennyini abakozeemu ensobi nga bakolra emirimu gyabwe.
Mu kiseera akabenje we kaagwiridde poliisi ebadde tennakoogerako.
No Comment