WAKATI mu kubeera na buli kimu, obugagga amagezi na buli kyetaagisa bulamu, omuliro gubatta Abamerika tebagulinaako magezi.
We bwazibidde eggulo nga gwakatta abantu 24 ate ng’aboobuyinza balabudde nti, wiiki eno, gugenda kutabukira ddala olwa kibuyaga ow’amaanyi agenda okugukasuka mu bitundu ebirala gwokye ebisigadde.
Okulabula okwo bw’okuwulira olowooza omuliro gutandika butandisi oba nti tegulina kinene kye gwonoonye naye manya bino wammanga:
Gwatandika wiiki ewedde, gwakatta abantu 24, gwakalumya bikumi na bikubi.
Abantu abasukka mu 100,000 badduse mu maka gaabwe, gwokezza ebintu bya buwumbi
na buwumbi bwa ddoola kyokka ng’ate gukyayaka n’essaawa eno w’osomera bino guli mu kwokya bintu by’abantu.
Omuliro guno Abazungu gwe bayita ‘Wild fire’ kubanga gwavudde mu bibira nga gwekoleezezzagwokka olw’amatabi g’emiti ageekuuta gokka ne gakwata omuliro. Gwokezza ebyalo n’ebyalo amayumba, amalwaliro, amasinzizo, amasomero, ebifo ebisanyukirwamu okuli ebbaala, bbiici buli kimu kyasirisse.
Essaza ly’e California gye guli lya ddungu ekireetera emiti okukala ne gikwata omuliro.
Amawulire ga Forbes galaga nti, wiiki eno omuyaga ogw’amaanyi ogulimu ebbugumu eppitirivu gugenda kusitula ennimi z’omuliro guzikube mu bitundu ebirala omuli amayumba g’abantu amalala gatete.
Jjukira Abazungu bazimbisa mbaawo si bbulooka ekireetera amayumba okwaka amangu.
Amayumba ga Bassereebu nago tegaalutonze okuli n’eya Mel Gibson eyaznnya ‘The Passion of Christ’ ekwata ku kuzaalibwa kwa Yezu.
Omuliro ogwatandikidde ku kyalo Hollywood Hills mu kibuga Los Angeles eky’Essaza ly’e California, gwasaasaanidde ebitundu by’ekibuga bingi, kati okutyokulala guli mu kudduka nga gugenda ku kyalo Beverly Hills awali amayumba ga bassereebu agasinga obungi era abamu ekyalo baakyetegudde dda.
Ekyewuunyisa, ku kyalo Altadena omuliro gwatuseeyo ne gukyokya kyonna, kyokka waliwo ennyumba kati ekung’aanirwako bakaawonawo nga babuuza bwe yasabye Mukama n’esigala. Wadde nnannyini yo akyasirise, abagendayo okufuna emikisa bagamba nti, waliwo omujulizi gw’abaddenga asinza era abaayo baatandise okusaba Klezia emulangirire nga bwe yakoze ekyewuunyo.
Meeya w’ekibuga Los Angeles, Karen Bass eggulo yategeezezza nti, kati ebizikiza omuliro babisimbye mu bitundu gye bitannaba kwokya kubanga eri gye guli gubalemeredde ne basalawo kuguteega