ABAKULEMBEZE ab’enjawulo, abakozi ba kkooti n’abantu abakola emirimu egy’enjawulo batenderezza abadde akulira poliisi mu kitundu kya Busoga East, Norman Musinga olw’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’okutekawo enkolagana n’abatuuze mu kitundu m ukiseera ekitono ky’amazeewo.
Omulabirizi Wakula Ne bannaddiini Abalala Nga Basabira Musinga.
Baamusimidde ku mukolo gw’akabaga ke baamukoledde ku Fort Lugard e Iganga nga bamusiibula oluvannyuma lw’okufuulibwa amyuka akulira eby’ebidduka mu ggwanga.
Omulamuzi omukulu mu kkooti ento e Iganga Daniel Epobu Kiboko ategeezezza nti ebbanga Musinga ly’amaze mu kitundu akendeezezza ku misango gy’obubbi bw’ebisolo bw’ogeraageranya ebiseera bye yali taliiwo.
Kino akyesigamizza ku nkiiko ez’enjawulo ze yakuba n’abatuuze n’abakulembeze ku by’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’asaba n’abalala okumukoppa.
Omulabirizi wa Central Busoga Diocese, Rt.Rev. Patrick Wakula asabye abantu abakola emirimu egy’enjawulo okubeera abeesimbu n’okwekwata Katonda nga bakola emirimu gyabwe okusobola okufuna emikisa n’okubasiima.
Ye Musinga asiimye bakama be okumukuza n’enkolagana ennungi ebaddewo n’abakulembeze n’abatuuze mu kitundu, ekibayambye okuweereza obulungi mu kitundu.
Nabadde OC w’e Iganga Micheal Tayebwa eyafuuliddwa DPC w’e Buliisa naye yeetabye ku kabaga kano n’asiima abaakabakoledde n’ategeeza nti kyabazzizzaamu nnyo amaanyi.