Abakontanyi abatuuse ku fayinolo za miss ne mr Bukedde bonna beewera

Jan 21, 2025

KITOKOTA mu nkambi ewakuumirwa abakontanyi omukaaga 6 abatuuse ku faniyolo za Miss ne Mr. Bukeddde.

NewVision Reporter
@NewVision

KITOKOTA mu nkambi ewakuumirwa abakontanyi omukaaga 6 abatuuse ku faniyolo za Miss ne Mr. Bukeddde.

Bano eggulo Olwokubiri lwe baayingidde enkambi (Boot Camp) ku Forest Park e Lweza gye bagenda okumala ennaku satu nga bawawulwa.

Brian Mukasa ng'awumuddemu. Ono y'omu ku bakotanyi.

Brian Mukasa ng'awumuddemu. Ono y'omu ku bakotanyi.

Bandi ya Xavier n’abakugu mu by’okuyimba bebali mu kubakubako enfuufu okubayongerako ku bukugu bwe babadde nabwo era eno bagenda kuvaayo okujja ku lunaku lwa fayinolo nga bakalaso.

Fayinolo zigenda kubaawo Olwokutaano lwa wiiki eno nga January 24, 2025, ku Theater Labonita. Emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 8:00 ez’emisana. Okuyingira kugenda kubeera kwa 20,000/-.

Empaka z’omwaka guno zigenda kubeera za njawulo kubanga Bukedde TV1 nayo ejaguza okuweza emyaka 15 mu kisaawe ky’okuweereza abantu era mu tiketi omuntu emuyingiza emutwala butereevu mu kazannyo k’okuwangula TV fulaati.

Abawala abali mu nkambi ku dyo Rita Maria Nansikombi ow’e Mengo , Samantha Namubiru ne Leticia Nalwoga ow'e Lugala.

Abawala abali mu nkambi ku dyo Rita Maria Nansikombi ow’e Mengo , Samantha Namubiru ne Leticia Nalwoga ow'e Lugala.

Ebisanyusa ebirala bingi byakubaayo okuli; omuyimbi Cidy Sannyu agenda okuyimbira abantu, Zubair Family, Aromatic Entertainment n’abalala bangi.

Abakontanyi omukaaga abali mu nkambi kuliko Leticia Nalwoga ow’e Lugala ne Masaka nga muyizi ku MUBS ali ku nnamba 001, Elisam Nuwaha ow’e Mbarara era omusuubuzi wa masimu ku Mutaasa Kafeero mu Kampala ali ku nnamba 002 ne Muzafaru Yiga ow’e Bulenga ali ku nnamba 003.

Abalala be; Samantha Namubiru ow’e Ndejje ali ku nnamba 004, Rita Maria Nansikombi ow’e Mengo ali ku nnamba 005 ne Brian Mukasa Ssebanja ali ku nnamba 006.

Abakontanyi nga bwe bali mu lwokaano.

Abakontanyi nga bwe bali mu lwokaano.

Osobola okulonda akusingidde.

Gwe ali eyo naawe osobola okulonda omukonyanyi akusingidde.

Okulonda wandiika Miss Bukedde, ennamba y’omukontanyi- erinnya lye osindike ku 0762988247.

Obawanguzi bagenda ku linnya bbaati na kufuna kyapa kya ttaka.

Maneja wa Bukedde TV Richard Kayiira Ssaalongo yagambye nti empaka z’omulundi guno nnyuvu nnyo kubanga ne Bukedde TV1 eri mu kujjaguza emyaka 15 ng’eweereza.

Xavier Bandi ng'eyambako Rita Maria Nansikombi.

Xavier Bandi ng'eyambako Rita Maria Nansikombi.

Abawanguzi bana 4 okuli owa Mr. n’anaamuddirira wamu n’omuwanguzi wa Miss n’anaamuddirira baakutwalibwa e Dubai okukwata vidiyo z’ennyimba zaabwe eziri ku mutendera gw’ensi yonna mu nteekateeka y’okulaakulanya ebitone by’abavubuka n’okuggulawo enzigi zaabwe.

Era mulimu ebirabo ebirala bingi okuli ebyapa by’ettaka bibiri ekya Miss ne Mr. ebyaweereddwayo aba Njovu Estate Developers e Nansana ng’ettaka lino lisangibwa Kakiri era liriko obunene bwa ffuuti 50 ku 50.

Empaka za Miss ne Mr Bukedde sizoni eno ziwagiddwa aba Njovu Estate Developers e Nansana abaawaddeyo ebyapa bya bawanguzi, AL' Hassan Tours and travel ku Equatorial mall abagenda okutwala abawanguzi e Dubai, Mariam’s Fashion e Bwaise abagenda okwambaza abasazi b’empaka zino n’abakonyi abagenda okutuuka ku fayinolo, Biva Organic ne Sumz Foods abakola obumpwankimpwanki ne Romis.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});