Abavuganya ku Miss ne Mr. Bukedde basigadde 6 Fayinolo zengedde beewangulire olugendo lw’ennyonyi

Jan 17, 2025

FAYINOLO y’empaka za Miss ne Mr Bukedde eza sizoni 4 ‘Linnya ebbaati’ za ku Lwakutaano nga January 24, 2025 ku Theater Labonita ng’okuyingira kwa 20,000/-.

NewVision Reporter
@NewVision

FAYINOLO y’empaka za Miss ne Mr Bukedde eza sizoni 4 ‘Linnya ebbaati’ za ku Lwakutaano nga January 24, 2025 ku Theater Labonita ng’okuyingira kwa 20,000/-. Emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 8:00 ez’emisana era omuyimbi Cindy Sanyu, Swengere, aba Aromatic Entertainment n’abalala baakusanyusa abantu ate nga tiketi ekuyingiza, ekutwala butereevu mu kazannyo k’okuwangula ebirabo okuli ne ttivvi.
Abavuganya omukaaga (6) be baasunsuddwa
okubbinkana ku fayinolo okugenda okuva bawanguzi abana abagenda okulinnya ennyonyiAbatuuse ku fayinolo kuliko; Brian Mukasa Ssebbanja w’e Kajjansi, Elisam Nuwaha w’e Mbarara, Muzafar Yiga w’e Bulenga, Samantha Namubiru w’e Ndejje, Rita
Maria Nansikombi w’e Mengo - Bulange ne Catherine Nalwoga w’e Masaka ne Lugala.
Baakubbinkana mu kwolesa ebitone eby’enjawulo okuli; okuyimba, okuzina amazina, okukuba ebivuga n’ebirala.
Abawanguzi bana (4) okuli Mr. n’anaamuddirira n’omuwanguzi wa Miss n’anaamuddirira baakutwalibwa e Dubai okukwata vidiyo eziri ku mutendera gw’ensi yonna mu nteekateeka y’okukulaakulanya ebitone.
N’ebirabo ebirala byakuwangulwa okuli; ebyapa by’ettaka bibiri ekya Miss ne Mr. ebyaweereddwaayo aba Njovu Estate Developers ng’ettaka lisangibwa Kakiri.
Empaka za Miss ne Mr Bukedde sizoni eno ziwagiddwa aba Njovu Estate Developers
e Nansana, AL’ Hassan Tours and Travel ku Equatorial Mall abagenda okutwala abawanguzi e Dubai, Mariam’s Fashion e Bwaise abagenda okwambaza abasazi b’empaka zino n’abavuganya abali ku fayinolo, Biva Organic, Sumz Foods ne Romis.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});