Agambibwa okubbibwako ettaka lye akukkulumidde office ya ssaabawaabi wa Gavumenti obutafuna bw'enkanya
Jan 22, 2025
Agambibwa okubbibwako ettaka lye akukkulumidde ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti obutafa ku nsonga ze ne bazikwata kifuula nnenge.

NewVision Reporter
@NewVision
Agambibwa okubbibwako ettaka lye akukkulumidde ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti obutafa ku nsonga ze ne bazikwata kifuula nnenge.
Rosemary Omamteker ne bba Darlington Omamteker (mujaasi eyawummula) wamu ne famire yaabwe bagamba nti mulirwana waabwe peace Barigye yayingira mu ttaka lye n'azimba mu kkubo n'ekikomera..
Bino byaliwo mu 2022 kyokka Omamteker agamba nti bweyagenda ku poliisi okuwaaba ,fayiro ye teyaggulwawo kyokka oluvanyuma Barigye n'awaaba eyiye ne bagiggulawo ate ne bakwata omukozi we n'asimbibwa mu kkooti.

Peace Barigye ng'ayogera
Ettaka erikaayaanirwa lisangibwa ku Urungi Crescent Plot 30 Entebbe nga famire ya Omamteker yagulako Plot 31A ate Barigye 31B kyokka balumiriza nti Barigye bweyatandika okuzimba nayingira mu kitundu kyabwe kyokka bwebaddukira ku poliisi nebaggula fayiro okuli nnamba CRB 447/2022, CRB 1070/2022, CRB 703/2022 zonna omuwaabi wa gavumenti Entebbe Annet Nabulobi yaziggalawo nga tabawadde nsonga.
Fayiro zino bawaabira Barigye okisaalimbira ku ttaka lyabwe kyokka ye bweyaggulawo fayiro CRB850/2024 olwo famire ya Omamteker Ku poliisi era eno baayimbulwa ku kakalu Ka poliisi gyebakyeyanjula nokutuusa Kati.
Mu bbaluwa gyebawandiikidde ofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti eyasooka bamuwandiikira nga August 30,2024 ne batafuna kuddibwamu ne baddamu okuwandiika nga January 21,2025 bano balambulula okwemulugunya kwabwe nga bagamba famire yaabwe eri mutulugunyizibwa olwembeera ebatereddwako nga tenafuna bwenkanya kyokka ngessaawa yonna poliisi eyagala kubakwata esaawa yonna.
Bagamba nti tebaafunye bwenkanya bwonna era bwebaddukira ewa ssabawaabi wa gavumenti baakwasibwa Andrew Odit eyabasindika ewakulira abawaabi wa gavumenti atwala ekitundu ekyo Moses Onencan . Ono yabalagira okufuna omumputa okuva mu minisitule yebyettaka ayerule ensala za poloti ezogwerwako era kyeebakola.
Alipoota okuva mu minisitule yebyettaka eyakolebwa November 8,2024 yalaga nti Plot 31B eya Peace Barigye yayingira mu Poloti 31A eyaba Omamteker netwalibwako decimolo munaana era waliwo okusalimba okwakolebwa Ku nsonga eyo

Rosemary ne bba nga baliko ebiwandiiko byebekennenya
Omamateker agamba nti wadde ebyo byonna baabikola tebafunye bwenkanya olwa fayiro zaabwe okuggalwawo awatali nsonga nnambulukufu kyokka nga eya Barigye etambula era ayagala basiba.
Mu 2022 Barigye yaleeta poliisi neggalira omukozi wa Omamteker ,Yunus Magomu eyali atumiddwa bakaamabe okutwala amayinja mu plot eyo nga Barigye agamba yiye.
Magomu yaggulwako gwakusalimba era gukyali mu kkooti Entebbe ewomulamuzi Stellah Maris Amabiris ngokuva 2022 teguggwanga.
Famire eno esabye bayambibwa okufuna obwenkanya baddizibwe ettaka kyabwe kubanga baagala kulikulakulanya naye basobeddwa.
Related Articles
No Comment