Amawulire

Ebyava mu bigezo bya S4 ebya 2024 bifuluma leero

MINISITA w'Ebyenjigiriza Janet Museveni afulumya leero ebyava mu bigezo bya S4.  

Ebyava mu bigezo bya S4 ebya 2024 bifuluma leero
By: Willy Ssemmanda, Journalists @New Vision

MINISITA w'Ebyenjigiriza Janet Museveni afulumya leero ebyava mu bigezo bya S4.  

Omugatte gwa bayizi 379,748 be beewandiisa okutuula S4 y'omwaka oguwedde okuli aba Curriculum empya 369,601 n'ab'enkadde 10,147 nga baabikolera mu bifo 4,168.

Ebyava mu bigezo bino birindiriddwa nnyo kubanga gwe mulundi ogugenda okusooka mu byafaayo bya Uganda okufulumizibwa wansi w'ensoma empya ey'abayizi aba S1, S2, S3 ne S4 eyitibwa "New Lower Secondary Curriculum (NLSC) eyatandika mu February wa 2020.

Awagenda Okutuula Minisita Kataha

Awagenda Okutuula Minisita Kataha

So nga n'abayizi abaasembayo okutuula ebigezo bya UNEB eby'ensoma enkadde mu bya 2023 ne batayita, baaweebwa omukisa okuddamu mu 2024 era nabo balinze ebyabwe olw’ensoma enkadde esiibulwe.

We ziweredde essaawa 9:00 ez'oku makya ng'enteekateeka zonna ziwedde abakulu we bagenda okutuula okufulumya ebigezo bino mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero.

Ekifo Awagenda Okutuula Abagenyi Abalala.

Ekifo Awagenda Okutuula Abagenyi Abalala.

Abakungu okuva mu kitongole ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, nga bakulembeddwa ssentebe w’olukiiko lwayo olukulu Polof. Celestino Obua ne Ssaabawandiisi Dan N.Odongo n'abaMminisitule y'ebyenjigiriza bonna baatuuuse dda, ng'alindiriddwa ye minisita w'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo Janet K.Museveni y’alindiddwa omukolo gulyoke gutandike mu butongole.

Omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule Musamba enkya ya leero ategeezezza nti amasomero agatannamalayo bisale bya UNEB gakikole mu bwangu kubanga tebajja kubateera bigezo byabwe ku 'portal' za masomero nga tebannamalayo.

Nga bulijjo ebigezo olunaamala okufuluma omuzadde aba asobola okulaba omwana we bwe yakoze ng'ayita ku SMS n'anyigamu PLE, n'alekawo akabanga, n'anyigamu ennamba y'omuyizi(Index number) n'asindika ku 6600.

Tags:
S4
Kufuluma
Bigezo
UNEB