Ebya S4 ne S6 eby’Abasiraamu bifulumye

Feb 13, 2025

EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku bigezo by’Obusiraamu mu ggwanga ekya Uganda National Examination Committee for Idaad and Thanawi kifulumizza ebyava mu bigezo by’omwaka gwa 2024 ne biraga nti, abayizi beeyongedde okwettanira okutuula ebigezo bino.

NewVision Reporter
@NewVision

EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku bigezo by’Obusiraamu mu ggwanga ekya Uganda National Examination Committee for Idaad and Thanawi kifulumizza ebyava mu bigezo by’omwaka gwa 2024 ne biraga nti, abayizi beeyongedde okwettanira okutuula ebigezo bino.
Ebyava mu bigezo bino byalangiriddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Dr. Hassan Kiyingi eyategeezezza nti, abayizi 919 be baatuula ebibuuzo bya Idaad (S.4) nga kwaliko abawala 434 ate abalenzi 485.
Abaatuula ebigezo awamu baali 1,057 nga ku bano kwaliko abaatuula ebya Idaad (ebya S.4) 919 ate ebya Thanawi (ebya S.6) baali 138.
Mu bya Idaad, abayizi 426 be baayitidde mu gguleedi esooka, abayizi 213 ne bayitira mu gguleedi eyookubiri ate 132 be baayitidde mu gguleedi eyookusatu, eyookuna bali 67, ate abaagudde n’enkoona n’enywa bali 44.
Essomero lya Kawempe Muslim SS lye lyasinze okukola obulungi. Lyaddiriddwa, Hawa SS-Naluvule, Buziga Islamic Theological Institute, Khulafah Islamic SS, Matugga Mixed SS ne Eeman High School.
THANAWI
Ate ebya S.6 (Thanawi) baabituula 138 nga kuliko abawala 37 n’abalenzi 101.
Ebigezo by’abayizi 6 byakwatiddwa lwa kwenyigira mu kukoppa, ate nga ku bya S.4 ebigezo by’abayizi 23 bye byakwatiddwa.
Amyuka Cansala wa Islamic University in Uganda evunaanyizibwa ku bigezo bino, Dr. Jamil Sserwanga yayozaayozezza amasomero agaayisizza abayizi kyokka n’agasaba okwongera amaanyi mu nkozesa ya tekinologiya kibasobozese okufulumya abayizi abasobola okuvuganya obulungi mu nsi eno ekyukakyuka.
Ssentebe w’akakiiko akavunaayizibwa ku bigezo bino Dr. Hafiz Walusimbi, yasiimye minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo wamu n’ey’ensonga z’ebweru w’eggwanga okuba nga zikakasa satifikeeti eziweebwa abayizi nga zino basobola n’okuzikozesa okwongerayo emisomo gyabwe ebweru w’eggwanga

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});