Mbega eyakwata ebifaananyi mu gwa Sipapa akatemye Poliisi nti ebifaananyi byamubulako
Feb 17, 2025
MBEGA wa poliisi eyeekebejja amaka ga bannansi ba Sudan agagambibwa okumenyebwa Sipapa ne banne akatemye kkooti,nti ebifananyi byeyakuba byabula dda.

NewVision Reporter
@NewVision
MBEGA wa poliisi eyeekebejja amaka ga bannansi ba Sudan agagambibwa okumenyebwa Sipapa ne banne akatemye kkooti,nti ebifananyi byeyakuba byabula dda.
Detective Constable Ronald Makaayi yali akolera Ku poliisi e Kabalagala Kati akolera Ntebbe , ng'akola okwekennenya n'okwekebejja ebifo awaziddwa emisango (scene of crimes officer ) abadde maaso g'omulamuzi Mike Elubu owa kkooti enkulu mu Kampala ng'awa obujulizi mu musango oguvunaanibwa Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa ne Shamirah Nakiyemba n'ategeeza nti ebifananyi bweyakuba mu maka ga Jacob Mul Arok ne Mary Ateng e Kawuku byabula.
Makaayi abadde asoyebwa munnamateeka wa Sipapa Henry Kunya n'ategeeza nti ebifananyi byonna byeyakuba maka ago byabula.
Agambye nti bino byaliibwa ekiwuka (virus) nga yali talina ngeri yonna yakubinunulamu. Kyokka Kunya akimutaddeko nti ye yenyini Makaayi yekiwuka ekyabirya,kyawakanyizza.
Mu bujulizi bwe Makaayi abuulidde kkooti nti mu maka ago baasangayo eddaala erigambibwa okukozesebwa abazigu ne balinya Ku balukoni gyebayita okuyingira ekisenge kya Arok olwo ne bakola obunyazi nga bawaka tebawulira.
Obujulizi obulala obuleeteddwa leero kuliko ebbaluwa zabasawo okuva ku Mayfair clinic e Wandegeya abeekebejja Arok ne Ateng abazuula nti bano baweebwa ebiragala ebyabawunza era weebatukira ku ddwaliro lino baali tebategeera bulungi ngate omukazi ayubuka engalo nokusiiyibwa olususu emikono.
Omusawo Fortunate Ninsiima yaleese abbaluwa zino ku lwa munne Gloria Kobusingye.
Omujulizi omulala abadde mu myuka wa LC e Buwate Muhammad Gingo eyaliwo nga bakuuma ddembe baaza amaka ga Sipapa e Buwate.
Sipapa avunaanibwa obwakkondo ssaako okwozesa mu ssente zaamanyi nti zifuniddwa mu bumenyi bwanateeka ng'agambibwa nti ne banne baayingirira amaka ga bannansi ba Sudan ne babba esssimu zabantu bawaka, TV ,ssente enkalu nga kozesa ebiralagalala okuwunza abaali mu maka omwo.
No Comment