Bongedde okuleeta obujulizi mu gwa Sipapa

Feb 18, 2025

KKOOTI enkulu mu Kampala egenda maaso n'okuwulira obujulizi mu misango egivunaanibwa Charles Olimu -Sipapa ne mukyala we, omuserikale aleese ebizibiti bye baasanga maka ge kyokka ssente tazireese.

NewVision Reporter
@NewVision
KKOOTI enkulu mu Kampala egenda maaso n'okuwulira obujulizi mu misango egivunaanibwa Charles Olimu -Sipapa ne mukyala we, omuserikale aleese ebizibiti bye baasanga maka ge kyokka ssente tazireese.
 
Olwaleero omuserikale AIP Elizapher Mpumbi eyakuliramu okwekenneenya n'okwaza amaka ga Sipapa e Buwate nga bayigga obujulizi mu gwokumenya amaka gabannansi ba Sudan.
 
Mpumbi yagambye nti mukwaza amaka ga Sipapa nga September 3 ne 4,2022 baasangayo ebintu ebyenjawulo era baabitwwla ng'ebiziti ebyabbibwa mu maka ga bawaaba, okuyambako mu kunonyereza.
 
Byebaasanga eno kuliko engatto y'omukono gwa kkono ekika jay Adidas ng'erimu essimu nnya ekika kya iPhone ne ccaaja zaazo, akabokisi akaalimu ebigambibwa okubeera zzaabu, ekyuma ekisanuusa zzaabu , ebyokwewunda byabakala ebya zzaabu, laptop ssatu okuli eya Dell, MacBook ne Apple.
 
Bagyayo nakuuma always ebifananyi aka DVR , ensawo ey'omungalo ssaako ddoola emitwalo 70 ng'ebyo byonna byabli bikuliddwa mu kisenge kya Sipapa.
 
Ayongeddeko nti baayongera okwaza mu sitoowa ne basangayo nnamba zebidduka okuli UBA 023U, UBJ 015 B ,ekyuma ekikozesebwa okumenya, magalo, ebyuma bya mmotoka n'ebintu ebyenjawulo..
 
Eno era baggyayo ssente enkalu emitwalo 99 eza Uganda, ddoola za Sudan 9900, Euro 25 neddoola entono 27.
 
Mpumbi 30, ayanjulidde kkooti laptop era naasiraga kkooti, essimu zonna,enagatto nensawo eyomungalo eyalimu ebyokwewunda bya zzaabu kyokka taleese ssente zebagyayo nga baaza.
 
Munnamateeka wa Sipapa ,Henry Kunya bwabadde asoya Mpumbi ebibuuzo amubuuzizza lwaki ssente zo teyazireese mu kkooti wabula n'ategeeza nga bwekiri eky'obulabe okumala gatambula ne ssente.
 
Kyokka Kunya amujjukiza nti poliisi erina emmotoka z'obugombe nnyingi kwesobola okugyako emu ne werekera ssente okutuuka ku kkooti n'okuzizzaayo, olwo nenimugwako. 
 
Kyokka Ono agumizza kkooti nti ssente gyeziri mu sitoowa ya poliisi e Kabalagala. Wabula Kunya alemeddeko nti namugamba baagingirira obujulizi ne baggulawo amaka ga Sipapa ng'omukazi bamulese bweru olwo ne bassaayo buli kyebagaala okubiteeka Ku Sipapa batuukirize ebigendererwa byabwe. Byonna omujulizi abiwakanyizza.
 
Mpumbi era ategeezezza mu maka ga Sipapa baasangayo emmotoka Audi S5 emyufu ssaako Jeep eyali eya siriva naye nga Bali mugifuuyira kkala efuuke myufu
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});