Paapa w’Abasodookisi atuuka leero mu Ggwanga
Feb 18, 2025
PAAPA w’Abasodokisi mu Africa, Theodoros II atuuka leero mu ggwanga ku bugenyi bw'agenda okumalako ennaku ssatu.

NewVision Reporter
@NewVision
PAAPA w’Abasodokisi mu Africa, Theodoros II atuuka leero mu ggwanga ku bugenyi bw'agenda okumalako ennaku ssatu.
Omutukuvu Paapa Theodoros II ali ku lugendo lw’okulambula amawanga g’obuvanjuba bwa Africa nga yatandikidde Nairobi mu Kenya gye yatuuka ku Lwomukaaga ng’eno gyanaava okutuuka mu Uganda ate bwanaava mu Uganda nga February 21, 2025 wakwolekera ekibuga Juba ekya South Sudan.
Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka okukyala kwa Paapa mu Uganda nga ye Mubaka w’e Lwemiyaga mu Palamenti, Theodore Ssekikubo yeebazizza gavumenti eyawakati olw’okukwatagana obulungi n’Eklesia mu kwaniriza Paapa Theodoros II atuula mu kibuga Alexandria ekya Misiri.
No Comment