Paapa w’Abasodokisi waakuzimbira Uganda ettendekero ly’abasawo

Feb 20, 2025

PAAPA Theodorous II nga y’atwala Obusodokisi mu Afi rika waakuzimbira Uganda ettendekero ly’obusawo n’ebyobulamu okutumbula ebyobulamu bw’abantu. 

NewVision Reporter
@NewVision

PAAPA Theodorous II nga y’atwala Obusodokisi mu Afi rika waakuzimbira Uganda ettendekero ly’obusawo n’ebyobulamu okutumbula ebyobulamu bw’abantu. 

Amawulire gano ag’essanyu yagaweeredde Lwemiyaga gye yayimbidde Mmisa entukuvu olunaku lw’eggulo.

Theodorous II yagambye nti, Eklesia yaakwongera amaanyi mu mirimu gyayo mu Uganda olw’ebyafaayo by’eggwanga mu kutandika n’okusaasaana kw’enzikiriza eno mu Buvanjuba bwa Afirika.

Paapa Theodoros Ii Ng'atuuka.

Paapa Theodoros Ii Ng'atuuka.

Omutukuvu Paapa era e Lwemiyaga gye yajagulizza okuweza emyaka 20 bukya alondebwa ku bukulu buno nga October 9, 2004 okudda mu bigere bya Paapa Petros eyafi ira mu kabenje k’ennyonyi mu mwaka ogwo.

“Bwe nalondebwa ku bukulu buno, ensi gye nasooka okugenyiwalamu yali Uganda ate ne bwe nawezezza emyaka 20 nasazeewo okujja mu Uganda olw’omukwano gwe nnina eri ensi eno,” Paapa Theodorous bwe yagambye.

Yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okumwaniriza obulungi ku Lwokubiri bwe yatuuse mu ggwanga era n’okumukyaza mu maka g’Obwapulezidenti. Ku mukolo gw’e Lwemiyaga, Gavumenti yakiikiriddwa Minisita omubeezi owa guno na guli mu Minisitule y’ebyobulamu Hanifah Kawooya. 

Ono Paapa yamutonedde ssappule gy’aba akozesanga mu bulamu era ku lulwe ne yeebaza gavumenti olw’okulwana okutumbula ebyobulamu bya Bannayuganda ate n’omwana omuwala.

Omukolo guno gwetabiddwaako n’ababaka ba Palamenti okwabadde; John Baptist Nambeshe, Brandon Kintu omwogezi w’akabondo ka NRM, Barnabas Tinkasimire, Hellen Nakimuli n’abalala, kw’ossa bannabyabufuzi abalala e Ssembabule.

Bano Paapa yabakubirizza okwagala ennyo eggwanga lyabwe Uganda kubanga nnungi ate n’okulera abantu okukyusa embeera yaabwe.

Omu Ku Bakristu Ng'abuuza Ku Paapa.

Omu Ku Bakristu Ng'abuuza Ku Paapa.

Minisita Kawooya yatenderezza enkola y’Eklesia ne Gavumenti era n’asuubiza nti, baakwongera okuwagira emirimu gyayo era n’agyebaza olw’okutendeka n’okugunjula Omubaka Ssekikubo aweereza eggwanga obuteebalira.

Ye Ssekikubo yagambye nti, akolagana na buli muntu ky’ova olaba bonna bazze okumwaniririzaako Paapa era n’abuulira abantu b’ekitundu kino nti, Pulezidenti Museveni waakujja okubalambulako mu nkola y’okugoba
obwavu.

Mu Mmisa Paapa yayambiddwaako Ssaabasumba w’Eklesia Jeronymos Muzeeyi, Bp. Silvestos Kisitu-Jinja, Bp. Nectarios Kabuye-Gulu, Ssaabasumba w’e Burundi ne Rwanda eyawummula, Innocentios Byakatonda, ate yeetabiddwaamu n’Omusumba w’Essaza ly’e Masaka mu Bakatoliki, Bp, Serverus Jjumba n’abenzikiriza endala.

Mu kusala keeki, Paapa yasanyusizza abantu bwe yaliisizza Minisita Kawooya, Ssekikubo ne Nakimuli. Leero ku Lwokuna Paapa agenda kuyimba Mmisa e Gulu n’okuggulawo Eklesia y’Omutukuvu Katerina. Ate enkya ku Lwokutaano agenda
kukyala ku Lutikko y’Okuzuukira kwa Yesu mu kibuga Jinja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});