Abakola nnamba z’ebidduka empya baanukudde ebibuuzo by’abantu

Feb 25, 2025

NG’EGGWANGA likyusa okuva ku nnamba z’emmotoka enkadde ezibadde zeeyambisibwa okumala emyaka 100 okudda ku mpya, abantu balaze ebyetaaga okukolwako  mu bwangu.

NewVision Reporter
@NewVision

NG’EGGWANGA likyusa okuva ku nnamba z’emmotoka enkadde ezibadde zeeyambisibwa okumala emyaka 100 okudda ku mpya, abantu balaze ebyetaaga okukolwako  mu bwangu.
Kkampuni ya Russia eya Joint Stock Company, Global Security (JSC) ye yaweebwa kontulak ti ey’emyaka 10 ey’okuteeka obuuma obulondoola ebidduka ku nnamba
z’emmotoka mu nkola emanyiddwa nga ‘Intelligent Transport Monitoring System.’
Baasookera ku kya kugula byuma naddala kkamera enkessi, okuteekawo ekifo
we balondoolera entambula y’ebidduka ku nguudo.
Ekyaddako kwali kutendeka baserikale ba ku nguudo era ne baweebwa ebikozesebwa
okukola emirimu.
Nnamba puleeti ezirimu obuuma obulondoola ebidduka ezaasooka zaaleetebwa
nga November 1, 2023 nga baasookera ku mmotoka za Gavumenti.
Omutendera ogwaddako gwaliwo nga November 1, 2024 n’okufulumya nnamba za
ppikippiki. Wadde ng’enkola eno ekyagenda mu maaso, kyokka wazzeewo okwemulugunya okuva mu bannannyini ppikippiki ezisaabaza abantu eza bodaboda abagamba nti bwe bazibabbako era tebazizuula
nga bwe baasuubizibwa. Kyokka abakulira kkampuni ya JSC eyaweebwa omulimu
gw’okukola ennamba empya, bagamba nti obuzibu businga kuva ku baserikale ba poliisi
ababeera mu kifo awabadden obubbi abalwawo okutegeeza abali ku kitebe we balondoolera kkamera. Olumu tebafunira ddala lipooti zikwata kum ppiki eziba zibbiddwa.

Ennamba ya digito eyassiddwa ku ppikippiki.

Ennamba ya digito eyassiddwa ku ppikippiki.


Aba kkampuni bagamba wasaana okubeerawo amateek galambuluddwa obulungi
agalina okugobererwa abaserikale ba poliisi ne babategeeza mu bwangu kuba olumu
babategeeza wayise ekiseera kiwanvu.
“Nga kkampuni erondoola,tukolagana ne poliisi, nga tubawa obuyambi
obwetaagisa, kyokka tetukola mirimu gyabwe. Ebintu bye uba tukung’aanyizza byonna
biterekebwa mu materekero ga poliisi ne babyeyambisa okulondoola ebidduka,” omukungu wa JSC ataayadde kumwatula mannya bwe yagambye.
Yagambye nti ebyuma ebyeyambisibwa kkamera z’oku nguudo bisobola bulungi
  okulondoola ppikippiki n’emotoka yonna ebeer ebbiddwa. Mu kiseera kino
ekiriwo kya kwongera okubunyisa kkamera z’oku nguudo mu bitundu by’eggwanga
eby’enjawulo.
Noolwekyo kibeera kikulu abakyusa ennamba z’ebidduka okuva ku nkadde, okumanya
empya ezirimu obuuma obulondoola ebidduka bwe zikola 

BYOLINA OKWETEGEREZA 

lPpiki n’emmotoka ezirina ebipapula by’okusasula engassi z’obuliwo tezisobola kufuna nnamba mpya, nga tezinnaba kusasula bbanja.
lEnkola tegumiikiriza bikolwa bya buli bwa nguzi ebirimu okukola ku kidduka kyonna ekiriko ensonga etamulunguluddwa bulungi.
lAbantu abaagala okufuna enamba empya basabibwa okusooka okukola ku nsonga ezo. Ebidduka era birina okuba nga biri mu mbeera nnungi awamu n’obutabo obulag  obwannannyini obukakasa nti ekidduka kisaana okubeera ku luguudo
era nga n’ebiwandiiko ebikikwatako bituufu.
lAmannya g’omuntu asaba ennamba empya ey’ekidduka galina okuba nga gakwatagana n’agali k  nnamba y’ekidduka enkadde. lEnnamba empya tezijja kufaanagana n’enkadde eziri ku bidduka kuba bwe baba bazigaba bakwata yonna gye basanze.
lAbaagala okufuna nnamba eziri mu mannya gaabwe ge babeera basazeewo ng’abantu, balina okusasula ebisale ebya bulijjo ebyateekebwawo Gavumenti. Singa omuntu asasula ng’omuntu ng’obudde buyiseeko abeera alina okusasula engassi ya 50,000/-.
lEnnamba empya ezigabibwa okuli eza mmotoka ne ppiki zaakolebwa nga bagoberera omutindo gw’ensi yonna. Gavumenti yatongoza omutendera
ogwokusatu nga January 6, n’ekiruubirirwa ky’okukola ku mmotoka eziyingizibwa mu ggwanga omulundi ogusooka. Ssente z’okuwandiisa ku nsalo e Malaba ne Mutukula ziri 714,300\-, okusinziira ku minisitule y’ebyentambula. 

EKIRUUBIRIRWA MU NKOLA ENO  

Ekiruubirirwa mu nkola eno kwe kutereeza ebyentambula n’okulwanyisa obumeny   bw’amateeka obweyambisa ppiki n’emmotoka.
OSABA OTYA
Minisitule y’ebyenguudo n’entambula yategeezezza nti ekiti ky’emmotoka eziyingira mu ggwanga omulundi ogusoose, zeezo ezirina okusasula emisolo ku mwalo e Mombasa oba Dar Salaam.
Emmotoka z’ekika kino zisobola okuyingira eggwanga ng’emmotoka eteereddwako ennamba empya we zituukira ku booda era nga zirina n’obutabo obuzoogerako. Ekyetaagisa kyokka kwe kugenda ku mutimbagano gwa portal.itms.ug amangu
ddala ng’omaze okusasula emisolo. Minisitule era agamba ekiti kino kikwata ku bantu abaleeta emmotoka mu bonded warehouses nga tezinnasasula musolo.
Oluvannyuma lw’okusasula emisolo n’okubalirira byonna ebyetaagibwa ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya URA nga mwotwalidde n’okuwandiisa
 mmotoka okukolebwa mu minisitule y’ebyentambula, ogenda ku mutimbagano gwa items.ug n’osaba okuweebwa ennamba empya. Oluvannyuma lw’okukakasa,
kasitooma alonda obudde n’ekifo w’ayagala okumuteerako ennamba empya ku mmotoka era ne bagimuleetera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});