Bugema terumikako

Bugema terumikako

Bugema terumikako
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Mu liigi ya yunivasite Kampala University 1-3 Bugema Leero (Lwakuna) Unik – IUEA, Kisubi BUGEMA University erinnye ku ntikko y’ekibinja D mu Pepsi University Football League bw’ekubye Kampala University (3-1) eggulo.
Omupiira guno ogwanyumidde ku kisaawe ky’e kiwempe ku Yes Center e Nsambya, gwatadde ttiimu zombi ku bunkenke nga buli emu erwana kuwangula okukulembera  ekibinja okugenda obutereevu ku quarter.
Kati Bugema erina obubonero 12 nga yeetaaga kulemagana ne Kampala International University (KIU) mu gusembayo. Zaaguyingidde zenkanya obubonero 9 nga zaawulwa ggoolo
2. Moses Elakas, Arthur Jjombwe ne Dennis Kimuli be baateebedde Bugema ate Gilbert Wanuume n’awonya Kampala University okuviirayo awo.
Sizoni eno, Bugema ekubye Kampala University awaka (2-1) ne ku bugenyi (3-1). Gulu y’eri mu kyokusatu ku bubonero (7) ate KIU y’ekoobedde n’akabonero kamu.
Kampala University esigazza Gulu University ku Yes Center e Nsambya.
Leero (Lwakuna), University of Kisubi (Unik) edding’ana ne International University of East Africa (IUEA) e Kisubi mu gw’ekibinja E.