9 be basunsuddwa okuvuganya ekya Ssegirinya e Kawempe North
Feb 28, 2025
EBYA bakomando mu JAT abaakubye amasasi nga bakwata Erias Luyimbazi Nalukoola (NUP) bwe yabadde yaakamala okwewandiisa biranze.

NewVision Reporter
@NewVision
EBYA bakomando mu JAT abaakubye amasasi nga bakwata Erias Luyimbazi Nalukoola (NUP) bwe yabadde yaakamala okwewandiisa biranze.
Ensonda zaategeezezza nti misoni eno teyagoberedde mitendera mituufu era y’emu ku nsonga lwaki tebazzeemu kulabibwa mu kwewandiisa eggulo. Bakomando b’ekitongole kya JAT abaasobye mu 30, baataayizza Nalukoola ne bamuyoola bwe yabadde yaakamala okwewandiisa ku Lwokusatu ne bamuteeka mu mmotoka ekika kya ‘drone’ ne bamutwala ku poliisi y'e Kawempe gye baamuteeredde ng’essaati gye yabaddemu eyuziddwa esigadde bulere.
Omwogezi wa UPDF, Maj. Gen. Felix Kulaigye bwe yabuuziddwa ensonga eyaleesezza JAT mu kulonda kw’e Kawempe yagambye nti yabadde talina ky'akimanyiiko.
Ekitongole ekirwanyisa obutujju ekya Joint Anti-Terrorist Task Force (JATTF), kyatondebwawo mu tteeka erirwanyisa obutujju erya Anti-Terrorism Act of 2002 oluvannyuma lw’ebikolwa by’obutujju okubalukawo mu ggwanga naddala abayeekera ba LRA abakulemberwa Joseph Kony era tekimala geetaba mu bikwekweto.
Abasirikale b’ekitongole kino balabirirwa ebitongole okuli ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO awamu n’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI.
Kyakolebwa lwa nsonga nti abaserikale abamu ba poliisi, mulimu aba UPDF n’abaggyibwa mu ggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya SFC.
Abakuumi ba JATTF baaweebwa okutendekebwa okw’ekikugu nga bakolera mu mbeera ez’enjawulo ng’olumu kizibu n’okumanya nti bali mu kifo.
Ensonda zaategeezezza nti engeri aba JAT gye baakuttemu ensonga baalabye nga yabadde teyeetaagisa nga n’abamu tebalaba nsonga lwaki baabadde bayingira mu kulonda kw’e Kawempe North.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi ekolagana n’ebitongole ebyenjawulo mu kukuuma emirembe. Eno y’ensonga lwaki abantu baalabye JAT, UPDF n’ebitongole ebirala. Kyokka yagambye nti abaserikale bano bwe beeyisa obubi bavunaanibwa kuba tebali waggulu w’amateeka.BASUNSUDDE MWENDA
Abantu mwenda be baasunsuddwa mu nnaku ebbiri ez’okusunsula abeesimbyewo mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya.
l Faridah Nambi owa NRM yawerekeddwaako abakungu ba NRM okwabadde Ssaabakunzi w’ekibiina mu ggwanga, Rosemary Seninde, William Katumba ne bba Rashid Bbaale.
Nambi yasuubizza okukola ku bizibu by'abantu b'e Kawempe ng’emyala, okutumbula obuyonjo, ebyenjigiriza n’okubatuusaako pulojekiti za Gavumenti ez’okwekulaakulanya.
l Moses Nsereko eyasoose okugaanibwa okuwandiisibwa ku lunaku olwasooseeggulo yazzeeyo ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda ezisangibwa mu Kakungulu zooni n’awandiisibwa oluvannyuma lw’okutereeza emikono gy'abamusemba.
Nsereko yakoze katemba bwe yatuuse ng’afubutuka emisinde ng’akirako agoba empewo ng’agamba nti obudde bw’abadde bumuyiseeko. Bwe yamaze okuwandiisibwa yafukamidde ku ttaka ne yeebaza ab’akakiiko k’ebyokulonda. Akabonero baamuwadde ka ntebe k’agenda okukozesa.
l Ismail Musiitwa owa PPP eyabadde alina okusooka okuwandiisibwa ku makya, yatuuse kikeerezi n’ategeeza nti ensawo omwabadde ebiwandiiko bye baagimubbyeko. Yazze n’ebbaluwa ya poliisi era n’awandiisibwa.
l Muhamood Mutazindwa amanyiddwa nga Sweet Cake yeewandiisizza ku bwannamunigina n’aweebwa akabonero k’eggaali.
l Henry Kasacca Mubiru owa DP yasitudde ebikonge ebyamuwerekeddeko okuli; Wasswa Lule eyaliko omumyuka wa Kaliisoliiso wa Gavumenti, omumyuka wa Ssaabawandiisi wa DP, Christine Namugerwa, Kenedy Mutenyo, ssentebe wa disitulikiti y’eKassanda Fred Kasirye Zimula n’abalala. Kasacca yasabye abalonzi okubeera abeegendereza ku muntu gwe balonda kuba akalulu kalimu bannakigwanyizi bangi.
Hamza Damulira omuyizi ku Metropolitan University yagaaniddwa okuwandiisibwa oluvannyuma lw’okutuuka nga talina mikono gimusemba nga ne lisiiti za bbanka eziraga nti yasasudde obukadde obusatu nga tazirina.
Abeewandiisizza eggulo beegasse ku bana abaasunsuddwa ku lunaku olwasoose okuli;
l Elias Luyimbazi Nalukoola (NUP),
l Sadat Mukiibi (FDC),
l Hajati Hanifa Karadi
l Muhammed Luwemba Lusswa.
Akulira ebyokulonda mu Kampala, Henry Makabayi ye yakulidde okuwandiisa abeesimbyewo era bonna n’abakuutira okuddayo leero bakkaanye ku ngeri gye bagenda okutalaaga ebitundu nga banoonya obululu
No Comment