Kitalo! Omuliro gusse bbebi ow'omwaka ogumu e Ntebe
Mar 06, 2025
Omwana omu afiiridde mu muliro n'abantu abalala babiri ne baweebwa ebitanda, e Ntebe.

NewVision Reporter
@NewVision
Omwana omu afiiridde mu muliro n'abantu abalala babiri ne baweebwa ebitanda, e Ntebe.
Omuliro gubadde ku kyalo Kisubi mu ggombolola y'e Katabi e Ntebe era nga gusse omwana Immaculate Nankuuma ow’omwaka ogumu n'ekitundu.
Omwana ono azaalibwa Morris Kituuka 45 era ng'abantu be abalala babiri okuli omukyala Racheal Kiconco 32 ne mutabani we Emannuel Kalyesubula 4 bafunye ebisago, ebitonotono.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti gwakutte ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ekiwalirizza Kiconco okukuba enduulu.
Agasseeko nti abadduukirize we baatuukidde mu nnyumba eno ey’ebisenge mmukaaga, omu ku baana ng'amaze okufa n'ebintu ebiwerako nga bitokomose.
No Comment