Sipiika Anita Among atenderezza amawanga g'Abasiraamu agaamuyiirawo omubiri ku tteeka ly'ebisiyaga
Mar 12, 2025
SIPIIKA wa palamenti Anita Among asiimye amawanga g’abayisiraamu agamuyiirawo omubiri mu biseera eby’okuyisa etteeka erirwanyisa omukwano ogw’ebikukujju, amawanga amalala bwegamwefuulira, ne gamuteekako envumbo.

NewVision Reporter
@NewVision
SIPIIKA wa palamenti Anita Among asiimye amawanga g’abayisiraamu agamuyiirawo omubiri mu biseera eby’okuyisa etteeka erirwanyisa omukwano ogw’ebikukujju, amawanga amalala bwegamwefuulira, ne gamuteekako envumbo.
Bwabadde asisinkanye ba amabasada abenjawulo abakikirira amawanga gaabwe mu Uganda wansi w’omukago gwa Organisation of Islamic Cooperation, Among akikattirizza nti mukadde ensi ezisinga bwezamwefuulira olw’okuyisa etteeka erikugira obufumbo bw’ekikukujju mu Uganda, amawanga g’e Buwalabu gamugumya obutatya era negamwaniriza nti waddembe okugenda ewabwe, yegazanyize eyo.
Wabula Among bano abawanjagidde bakwatireko Uganda mu by’ensoma by’omwana omuwala naddala abaana abasiraamu abasindikibwa mu bufumbo nga bato.
Ba Ambasada bano okuva mu mawanga okuabdde Iran, Pakistan, Turkey, Nigeria, Somalia n’amalala nga bakulembeddwamu owa Turkey Mehmet Fatihak, bategezezza nti nabo wano e Uganda tebatudde butuuzi wabula balina ebiwera byebakoze naddala mu by’enjigiriza n’ebyobulimi.
No Comment