Ssaabalamuzi asanyukidde enkola ya bannabyabufuzi abavuganya ku kifo ekimu
Mar 13, 2025
Ssaabalamuzi asanyukidde enkola ya bannabyabufuzi abavuganya ku kifo ekimu

NewVision Reporter
@NewVision
EYALI Ssabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe asanyukidde enkola ya bannabyabufuzi abavuganya ku kifo ekimu okutandika okutuula awamu ne bakubaganya ebirowoozo ku bye bagenda okukolera abalonzi mu kitundu ekyo ekiraga nti Uganda erina w’etuuse.
“Nabadde mu ddiiro lyange ne ndaba nga bannabyabufuzi abavuganya ku kifo kya Kawempe North mu Kampala nga bakubaganya ebirowoozo ku TV emu wadde mbadde sibigoberera naye kino kyansanyusizza era kiraga nti Uganda erina weetuuse mu byobufuzi” Katureebe bwe yategeezezza.
Katureebe yagambye nti takyalina kyayagala ku by’obufuzi era takyabigoberera kubanga yabimala mu kiseera kyabyo ekituufu kubanga yaliko kabinenti minisita era Ssaabawolereza wa gavumenti nga ebyo bwe yabivaamu n’ayingira obulamuzi takyalina kyabyagaza.
Katureebe okwogera bino yabadde akyaddeko ku kitebe kya Namibia mu Uganda okuteeka omukono mu kitabo ky’abakungubazi ng’asaasira omubaka wa Namibia mu Uganda, Godfrey Kirumira ne Namibia okutwaliza awamu okufiirwa eyali Pulezidenti waabwe eyasooka Sam Nujoma.
Mu ngeri y’emu Katureebe yagambye nti yasiimye ekya gavumenti ne poliisi okuvaayo ne beetonda ku byaliwo e Kawempe ne bakakasa nti kino tekigenda kuddamu era nange sirina nsonga lwaki sikakasa nti bye baayogedde bituufu era tebigenda kuddamu kubaawo.
Yayongeddeko nti mu kiseera kino yawummula obulamuzi era anyumirwa bulamu bwe nga Munnayuganda omulala yenna kubanga ebiseera ebisinga abimala ku ffaamu ye n’okusanyukamu ne ffamire ye ssaako ne bazzukulu be kwogatta n’okuweereza mu kitongole kye yatandikawo ekitabaganya abantu ababeera basowaganye mu by’amateeka (mediation and arbitration). Katureebe yagambye nti teyasobola kukungubagira Nujoma nga tanaziikibwa naye era kibadde kimukakatako okujja okuteeka omukono mu kitabo ku kitebe kya Namibia.
Katureebe yawerekeddwako bannamateeka okuli Francis Nshekanabo owa Nshekanabo And Partners , Advocates and Solicitors ne Oscar Kambona owa Kampala Associated Advocates.
Nujoma yafuuka Pulezidenti wa Namibia mu 1990, nga Namibia efunye obwetwaze era nawaayo obuyinza mu mirembe mu 2005 ng’afuze ebisanja bisatu byokka. Yaziikiddwa nga March/01/2025 ku kisaawe ky’abazira ekya “Heroes Acre
No Comment