ABAYIZI basindanye mu mpaka z’ebyobuwangwa ku Uganda Martyrs University (UMU) e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi. Bano abaabadde mu bibiina byabwe okusinziira ku kabira zaabwe, baayolesezza emisono gy’engoye, emmere eyenjawulo, eddagala n’ebibala ebinnansi.

Abayizi nga boolesa amazina g'obuwangwa obw'enjawulo
Oluvannyuma baasindanye mu kuyimba n’okuzina. Amawanga kwabaddeko; Abaganda nga beegattira mu BANKOSA (Baganda Nkobazambogo Students Association), abava mu mambuga ga Uganda aba UMUGNESA (Uganda Martyrs University Great North and East Students Association) n’Abagisu abeegattira mu Bamasaba Students Association. Abalala kuliko Abateeso, Abakalamoja n’Abasudani.
Gye byaggweeredde ng’aba Nkobazambogo bawangudde bannaabwe era ne baweebwa sseddume w’ente. Baagobereddwa aba UMUGNESA nga baafunye embuzi bbiri ate abookusatu baabadde Basudani nga baafunye embuzi emu.

Abayizi nga boolesa emizannyo egy'enjawulo mu buwangwa bwabwe
Empaka zino zaamaze ennaku ssatu okuva ku Lwokuna nga March 13 okutuuka ku Lwomukaaga nga March 15. Zaawagiddwa ekitongole kya Cross Cultural Foundation of Uganda (CCFU) nga kino kiyamba abayizi mu yunivaasite okwagala obuwangwa bwabwe n’obwabalala. Annet Sumba, akola ku by’okunoonyereza agamba nti bali mu yunivaasite okuli; Kabale, Kyambogo, UMU ne Islamic University in Uganda (IUIU).
Ye omugenyi omukulu, Vincent Mutahunga nga yasomerako mu yunivaasite eno agamba nti emikolo gino gigatta abayizi abenjawulo ne bakola emikwano nga bwe bayiga ne ku buwangwa bwa bannaabwe.

Abayizi nga boolesa amazina mu buwangwa bwabwe
Mu ngeri yeemu, Rev. Fr. Dr. Christopher Mukidi, amyuka akulira yunivaasite agamba nti abayizi bwe bamanya n’okwagala obuwangwa bwabwe n’obwabalala, basobola okutandikamu emirimu. Okugeza, basobola okutunda emmere, engoye n’okukola ebibiina by’abayimba ennyimba z’amawanga ag’enjawulo.