ABADDUKANYA eddwaliro erijjanjaba abalwadde ba kookolo e Mulago erya Uganda Cancer Institute nga bali wamu n'ebibiina ebyenjawulo ebibudaabuda abaana abalina obulwadde buno batongozza emisinde mubuna byalo mwe basuubira okukung'aanyiza ssente obuwumbi 2 n'ekigendererwa eky'okuzimba ebisulo okuli n'essomero omunaakuumibwanga abaana ababeera bazze okufuna obujjanjabi ku ddwaaliro lino .
Moses Echodu ow'ekibiina kya Uganda Cancer Child Foundation yategeezezza nti emisinde gino gya kubeerawo nga 18 May 2025. Okugyetabamu abakulu baakugula emijoozi egy'okuddukiramu nga buli gumu gwa 30,000/- ate egy'abaana gya 25,000/- nga ssente zonna ezinaabeera zikung'anyiziddwa zaakugenda butereevu ku nteekateeka y'okuzimba ebisulo by'abaana.
Olw'okuba omuwendo gw'abaana abatawaanyizibwa obulwadde buno gweyongedde nga n'abaana abamu kati baleetebwa okuva mu mawanga ag'omuliraano okujjanjabibwa e Mulago, Echodu agamba nti kino kye kireeseewo obwetaavu obw'okuzimba ekifo ekisulo.
Suzan Nabakooza omusawo w'abaana ng'ono emyaka egisoba mu 15 ng'ajjanjaba n'okubudaabuda abaana abalwadde ba Kookolo ku Uganda Cancer Institute ategeezezza nti olunaku balaba abaana abakunukkiriza mu 55 ku kiriniki ate abaana abali eyo mu 45 be bali ku bitanda.