Abavubuka ba Ghetto basiimye afande Ddamulira
Mar 19, 2025
ABAVUBUKA ba Ghetto basiimye Gen. Christopher Ddamulira ne bamukolera n’akabaga k’amazaalibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAVUBUKA ba Ghetto basiimye Gen. Christopher Ddamulira ne bamukolera n’akabaga k’amazaalibwa. Baabadde Kamwokya era Shaffick Kalyango akulira abavubuka ba Ghetto agamba nti, baali bayigganyizibwa abakuumaddembe kyokka Afande Ddamulira n’abayambako ne bakolera wamu okulwanyisa abumenyi bw’amateeka. Amyuka RCC wa Kampala Central, Ali Shafik Nsubuga yagambye nti Ghetto naye mw’ava, yakyuka ng’ekulaakulanye evaamu n’abakulembeze. Ddamulira eyabadde omusanyufu, yategeezezza nti minsoni gy’alina, yaakukyusa mbeera z’abavubuka ba Ghetto, beegobako obwavu.
Related Articles
No Comment